• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Ssaabasajja Kabaka  agguddewo omwaka 2023, asabye abantu okwekuuma

Gambuuze by Gambuuze
December 31, 2022
in Amawulire
0 0
0
Ssaabasajja Kabaka  agguddewo omwaka 2023, asabye abantu okwekuuma
0
SHARES
28
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Lubiri – Mmengo

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye naggalawo omwaka 2022 era naggulirawo abantu be omwaka omuggya ogwa 2023 wakati mu kubasaba okwekuuma  akawuka ka Mukenenya n’okukola ennyo bakulaakulane.

Omukolo guno Nnyinimu agukoledde mu Lubiri e Mmengo ku Lwomukaaga mu Nkuuka ya CBS Vimbaa ey’omwaka 2022   wakati mu Nnamungi w’omuntu akung’aanye okuva mu buli kasonda ka Buganda.

Mu bubaka bwe obusomeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga, Omutanda asabye abantu be okwekuuma ennyo akawuka ka Mukenenya basobole era banyweze obumu olwo Buganda esobole okugenda mu maaso.

Beene atuuse ku ssaawa nga 11 ez’olweggulo era abadde awerekeddwako Nnaabagereka Sylivia Nagginda, Omulangira Richard Ssemakookiro, n’abakungu abawerako.

Omutanda olutudde ku Nnamulondo olwo olukontana olw’akamalirizo olw’ Entanda ya Buganda nelutandika wakati wa munnabuddu Buwemba Julius eyeddira Engo ne  Nakana Jude eyeddira Ente nga bano bebayiseewo kwabo omukaaga abasobodde okuyitawo nebatuuka mu Lubiri.

Gyebigweredde nga  Buwemba Julius  awangudde Nakana Jude bwatyo nasitukira mu kyaa ky’ ettaka n’obukadde butaano era nafuna omukisa okwanjulwa mu maaso ga Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka ng’ Omuzira mu Bazira w’omwaka 2022.

Ku lulwe Katikkiro Mayiga akulisizza Beene ne Nnaabagereka  omwaka 2022 omulungi era ogw’emirembe era nasaba abantu okutambulira ku bubaka  Nnyinimu bweyawa  obw’omwaka bweba baagala okugenda mu maaso.

Ono asabye abantu okujjumbira enteekateeka za Buganda okuli okugaba omusaayi, okuwaayo Oluwalo, okulima emmwaanyi basobole okulwanyisa obwavu era basigale nga bali bumu basobole okulwanirira ensonga za Buganda Ssemasonga ettaano omuli ne Federo.

Ku ssaawa 12 : 45, Omutanda akutte ekisumuluzo ekibadde kiwundiddwa obulungi naggulawo omwaka  n’okubaagaliza ebirungi ebyerere wakati mu mizira  okuva mu bantu be ababadde bakungaanye. Omutanda oluvannyuma asiibudde abantu be nadda mu Lubiri.

Wano abayimbi ab’ enjawulo omuli Vinka, Pallaso, Chameleone, Maureen Nantume, Aidah Muggo, John Blaq, Alimpa, Sheebah Kalungi n’abalala nebagenda mu maaso nokusanyusa abantu ba Kabaka.

Enkuuka y’ omulundi guno esitudde ebikonge eby’enjawulo omuli;  Baminisita ba Kabaka, Akulira oludda oluvuganya Mathias Mpuuga, abakungu b’ebitongole, Abalangira n’Abambejja,  Abataka, Abakiise mu Lukiiko lwa Buganda nga bakulembeddwamu Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Oweek Patrick Luwaga Mugumbule n’Omumyukawe Oweek Ahmed Lwasa n’abakungu abalala.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.