
Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye naggulawo Olukiiko lwa Buganda olwa 31 era naasaba Abaami abaggya okwewala enkwe wabula bafuuke eky’okulabirako ky’obuweereza obulungi.
“Abeeyanzizza Obwami tubakuutira okubeera eky’okulabirako era ekifaananyi eky’obuweereza obulungi nga mwemuli obuwulize, obumalirivu obutaliimu nkwe. Twagala abavubuka baffe n’abantu bonna okwegomba obuweereza bwammwe n’okulaga nti tusobolera ddala bulungi okutuusa obuweereza eri abantu baffe mu mukwano nga tugoberera amateeka awamu n’ ennono, ” Omutanda bw’ategeezza Olukiiko.
Nnyinimu asabye abantu okwongera okwettanira obulimi awatali kukoowa era nasaba gavumenti okutwala eby’obulimi ng’essomo ekkulu ennyo era lisomesebwe okutuuka mu Siniya kisobozese abaana okuyiga eby’obulimi nga bakyali mu masomero.
Kabaka asabye kkooti ez’enjawulo ziyambeko okulwanyisa ekibbattaka kubanga emirundi mingi abantu abagobaganyizibwa ku ttaka beekubira enduulu wabula emisango gyabwe nekitwala akaseera okuwuliriza emisango gino.

Omutanda asoose kukulisa Abaami abaweereddwa obuvunaanyizibwa obutali bumu era neyeebaza abaami abawummudde olw’ettofaali lyebatadde ku kuzimba Buganda.
Ye Katikkiro Charles Peter Mayiga bw’abadde ayogerera mu Lukiiko luno aweze mu maaso ga Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka nga bwebatagenda kubongoota nga bassa ebiragiro bye munkola era nakakasa nti bakuggyayo nag’omu buto okufunvubira okulwana bazze Buganda ku ntikko.
Owek. Mayiga yeebazizza abantu abazze okubugiriza Nnyinimu Ssaabasajja nga atuukiriza akalombolombo k’okuggulawo Olukiiko.

Mu Lukiiko luno Abaami abaggya omuli baminisita, Abaami b’Amasaza awamu n’Abakiise beeyanzizza Obwami era nebawera obutatiirira Nnyinimu.
Olukiiko luno lwetabiddwamu Nnaalinnya Lubuga, Agnes Nnabaloga, Maama Nnaabagereka Sylvia Nagginda, Omulangira David Kintu, Omulangira Crispin Jjunju, Omumbejja Katrina Ssaangalyambogo, Ssaabaganzi Emmanuel Ssekitooleko, Abataka b’Obusolya awamu n’abantu abalala.









