Bya Francis Ndugwa
Kampala
Ssaabasajja Kabaka agabidde abantu b’emmere y’obuwunga obuwera ttani 2 n’ekitundu bubayambeko mu mbeera gye balimu ey’omuggalo.
Emmere eno, Omutanda yagiyisizza mu musajja we, Omuk. Hajji Ahmed Hussein Mandera, nannyini kkampuni y’obuwunga bwa Supreme era ekwasiddwa abakulu b’ebika mu bimuli bya Bulange olwaleero ku Lwokusatu.
Omutaka w’ekika ky’ Envuma, Kasirye Kyaddondo Mbugeramula, ategeezezza nti wadde omuggalo gwatagguluddwa, naye embeera ekyali mbi era ne yeebaza Nnyinimu olw’okubadduukirira.
“ Abataka balina abazzukulu bangi abalina obuvunaanyizibwa obwenjawulo nga omuggalo gw’abanyiga, era twebaza n’Omuk. Omar Mandera atuwadde emmere eno ku lwa Ssaabasajja Kabaka.” Omutaka Kasirye bw’ategeezezza.
Omutaka akulira ekika ky’Engeye, Kyesimba Kasujja Kakande Kibirige Sheba, akoowodde abazzukulu abalala okuvaayo baweeyo kuba okugaba tebubeera bugagga naye omutima, kuba balina abantu bangi omuli abasiige abeetaaga okuyambibwako.
Ate ye omutaka w’ekika ky’Engo, Jjajja Muteesaasira, ategeezezza nti kino kibeere kyakulabirako eri abazzukulu abalina obusobozi kubanga buli omu mu mbeera eno yeetaaga kuyambibwako era n’asaba abazzukulu abanyigirizibwa embeera okubatuukirira.
Omuwanika w’olukiiko lw’aboogezi b’emikolo, Joseph Kizito, asiimye Omutanda olw’okuyita mu musajja we Mandera n’abagabira ku mmere eno okubayambako ku mbeera eno.
Kinajjukirwa nti Katikkiro Mayiga abadde yaakamala okusaba abantu okuyambagana mu mbeera eno, kuba bangi embeera ebayinze olw’ekirwadde kya Ssennyiga Corona ekyatabangula ebyenfuna.