
Bya Gerald Mulindwa
Kiteezi – Kyaddondo
Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II adduukiridde abantu abakosebwa enjega yokubumbulukuka kwa kasasiro e Kiteezi n’ebikozesebwa mu bulamu obwa bulijjo.
Enkata eno, Katikkiro Charles Peter Mayiga yagitwalidde abantu b’Omutanda bano ku Lwokuna nga abadde awerekeddwako baminisita ab’enjawulo, ng’ abasanze mu kifo webaakuba Weema e Bumbu Kiteezi ku ssomero lya kiteezi Church of Uganda Primary School, oluvannyuma lw’obuzibu obwasanyaawo amayumba gabwe n’ebintu byabwe ebirala.
Mu biweereddwayo kuliko; emifaliso, omuceere, sukaali, akawunga, emigaati, ebikozesebwa mu nnaku z’abakyala, amata, n’ebirala bingi.
Okusinziira ku Katikkiro Mayiga, Beene asaasidde abaafirwa abantu babwe wamu n’ebintu ebitali bimu.
Owek. Mayiga wano azzeemu okuwabula KCCA nti basaanye okukola enteekateeka y’ekyokero kya kasasiro sso ssi ku muyiwa buyiyi naakola entuumu kuba y’enkola eyambye ensi ezaakula edda ng’ate kino bwekikolebwa baba basobola okumufunamu n’amasanyalaze.

Awadde emiganyulo gya kasasiro okuli, okuvaamu Amanda, amafuta, gas, n’ebirala, nti bino byonna bya mugaso eri omuntu singa amagezi g’ekyokero gateekebwa mu nkola.
Owek. Mayiga era asabye KCCA enkuliremu kaweefube w’okwawula kasasiro avunda nooyo atavunda, okugeza akaveera katwala emyaka mingi nga tekannavunda ekikosa obutondebwensi.
Kamalabyonna agamba nti enteekateeka eno yandyettaniddwa nnyo mu maka nemu masomero nga bateekawo ebipipa ebigendamu kasasiro avunda ate nooyo atavunda okwanguya omulimu gw’okumulongoosa akozesebwe.

Enkambi eno kati erimu abantu abasoba mu 261 okuli abaami, abakyala n’abaana abato.









