Bya Gerald Mulindwa
Bulange
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, asiimye okusimbula abaddusi b’emisinde gy’amazaalibwa ge egy’omwaka guno, egigenda okubaawo nga 29 Museenene (November) omwaka guno mu Lubiri e Mmengo.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/10/d5bc7b54-2ca0-4d33-8bc5-442d9e36da2f-1024x683.jpg)
Kino kirangiridde Katikkiro wa Buganda, Charles Mayiga, leero ku Lwokuna mu Bulange e Mmengo bw’abadde alangirira olunaku kwe ginaddukirwa ng’ali wamu ne bannamikago.
“Ssaabasajja yasiimye okubawuubira abaddusi ng’ennaku z’omwezi 29/ November/2020 mu Lubiri e Mmengo.” Owek. Mayiga bw’agambye.
Mayiga agambye nti bwe baali bagiyimiriza, baalaga nti embeera bw’erirongookamu balisaba Ssaabasajja asiimye awuubire ku baddusi mu ngeri eriba esoboka era nga kati abantu bayize engeri g’okwerindamu ekirwadde kino nga; okwambala obukookolo, okunaaba mu ngalo, okwewa amabanga n’ebirala.
“Akakiiko ka Owek. Kaawaase katulambise nti Ssaabasajja Kabaka asobola okuwuubira abaddusi abatono ate nabo nebaddukira munda mu Lubiri mwe banaatema amakubo ge banaayitamu ate nga bamaze n’okukeberebwa Ssennyiga Corona.” Mayiga bw’alambuludde.
Kino kiddiridde emisinde gino egyalina okukulemberamu okujjukira amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka okuyimirizibwa olw’ekirwadde kya Ssennyiga Corona ekyali kitadde ensi ku bunkenke era nebateekawo akakiiko okutuula balabe oba Beene asobola okuwuubira ku baddusi.
Mayiga agasseeko nti okusinziira ku kakiiko kano, abantu abalala bo bajja kuddukira mu maka gaabwe oba omuntu okudduka obw’omu mu bitundu gy’abeera.
Ono annyonnyodde nti enteekateeka yajanjulidde Ssaabasajja era n’asiima awuubire ku baddusi ng’ennaku z’omwezi 29 Museenene 2020 mu Lubiri e Mmengo.
Agambye nti emisinde gino gigenda kuddukibwa wansi w’omulamwa gw’okulwanyisa Siriimu era nga basuubira nti abasajja bajja kwongera okukulemberamu olutabaalo.
“Twagala okweyambisa emisinde gya Kabaka okubajjukiza nti Siriimu ne mu mbeera ya COVID-19 akwatiramu ate akwatiramu nnyo kubanga abantu webali tebavaawo.” Mayiga bw’agambye.
Annyonnyodde nti bagenderera okulaba nga balwanyisa Ssennyiga Corona naye mu kiseera kye kimu abantu baleme kukwatibwa Siriimu.
Mayiga ategeezezza nga bwe basaze ku bisale by’obujoozi obulina okwambalwa nga buvudde ku 15,000/= nebudda ku mutwalo gumu olw’ensonga nti abantu tebalina ssente.
Asiimye bannamikago okuli; Airtel Uganda, DFC bbanka, UNAIDS n’abalala, olw’okufaayo ennyo mu kulwanyisa ekirwadde kino awamu n’okuwagira Obwakabaka.
Ate ye Minisita w’ebyemizannyo, Owek. Henry Ssekabembe, asabye abantu ab’enjawulo okuvaayo beetabe mu misinde gino awo we banaabeera bali, kiyambe okutambuza olutalo olulwanyisa ekirwadde kya Siriimu.
Emisinde gy’Amazaalibwa ga Kabaka egimanyiddwa nga ‘Kabaka Birthday Run’ gibeerayo buli mwaka era nga gye gimu ku ejjo egisinga okwetabwamu abantu mu Africa n’ensi yonna.