Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Ssaabasajja Kabaka asiimye okulabikako eri Obuganda ku Mmande ng’ennaku z’omwezi 11/ Jan/ 2020 aggulewo olukiiko lwa Buganda olw’olutuula olwa 28 mu Bulange e Mmengo mu Kampala.
Okusinziira ku Sipiika w’olukiiko lwa Buganda, Owek. Patrick Luwagga Mugumbule, olukiiko lw’omulundi guno lugenda kutuula mu ngeri ya njawulo wakati mu kugoberera ebiragiro bya Ssennyiga Corona okwetangira ekirwadde kya Ssennyiga Corona.
“Mu lukiiko luno tetugenda kuba na bakiise bonna aba bulijjo era Ssaabasajja Kabaka yasiima olukiiko luno aluggulirewo mu kisenge ky’Olukiiko lwa Buganda. Era olukiiko lujja kutandika ku ssaawa nnya ez’okumakya nga bwe tuteeseteese.” Owek. Mugumbule bw’agambye.
Sipiika Mugumbule annyonnyodde nti essira balitadde ku bakiise abateeyanzanga bwami olw’ensonga nti, Ssaabasajja Kabaka yasiima olukiiko n’aluzza obuggya era nga lulimu abakiise bangi abapya era nga bano be baweereddwa omukisa okweyanza mu maaso g’Empologoma ng’abalala abeeyanza edda, omukolo bajja gulabira ku mutimbagano.
Ku bantu 200 abatuula mu kisenge kya Bulange eky’Olukiiko ku mulundi guno kigenda kubeeramu abantu 90 bokka okusobola okulekawo amabanga.
Owek. Mugumbule agamba nti kino bakikoze okusobozese abakiise okukwata ebiragiro nga beewa amabanga era asabye abantu bulijjo omuli ababeera ku kabanyi obutajja kuba omukolo gwa bantu batono nnyo.