Bya Francis Ndugwa
Mmengo
Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka, Ronald Muwenda Mutebi II, asonze ku muntu omutuufu abalonzi gwe balina okuwa akalulu ka 2021 akabindabinda.
“Tusaba abalonzi mutunuulire nnyo abo abasobola okukulaakulanya omuntu wa bulijjo n’okulwanirira ebintu ebikulu Buganda bye yettanira.” Ssaabasajja Kabaka bw’alambise.
Okuwabula kuno, Beene akukoledde mu Lubiri lwe e Mmengo leero ku Lwokuna, bw’abadde alabiseeko eri Obuganda okukuza olunaku lwa gavumenti ez’ebitundu wamu ne Bulungibwansi mu Buganda.
Beene asinzidde ku mukolo guno n’asekerera abaali bamubise n’ategeeza nti akyaliwo nnyo era ng’alamula.
Empologoma ennyonnyodde nti buli olunaku lw’Ameefuga lwe gatuuka, gajjukiza Abaganda okusoomoozebwa kwe bayiseemu okuva ku bazungu olw’ebintu ng’effutwa n’obukyayi ebyakolebwanga n’ebirala bikyakolebwa.
Maasomoogi agamba nti wadde byonna byakolebwa kusaanyaawo Buganda, byamaliriza binyize n’ebintu ebirala ebya Uganda, n’ategeeza nti ekinaamalawo obulumi buno y’enfuga eya Federo.
“Ffe tulowooza nti okumalawo ebiwundu bino byonna, n’okwongera okunyweza obumu bwa Buganda n’ebitundu ebirala, twetaaga obufuzi obujjudde obwenkanya, obugoberera amateeka n’okugabana obuyinza nga tugoberera ebyetaago bya buli kitundu.” Musota bw’ategeezezza.
Nnyinimu alaze nga bwe waliwo abantu abatakwatibwako nga bano beesomye okusaanyaawo obutonde bw’ensi wabula ng’ekitongole kya NEMA tekirina kye kikolawo wadde nga waliwo amateeka.
Kabaka asabye gavumenti etuukirize ekisuubizo ky’amasannyalaze mu byalo era ekendeeze ku musolo oguggyibwa ku bintu by’amasannyalaze g’enjuba, kiyambe okukendeeza abatema emiti nga banoonya eby’okufumbisa.
Asabye abaami okukola ennyo okulaba nga bataasa obutonde bw’ensi nga bakunga n’okugatta abantu be, bafuuke omuntu omu.
Beene asiimye abantu be olw’okugoberera amateeka agatangira ekirwadde kya Covid-19 era n’abasaba obutagayaala okutuusa nga olutalo ku kirwadde kino luwanguddwa.
Omutanda yeebazizza abategesi b’omukolo guno n’ategeeza nti wadde abantu babadde batono naye ate gubadde munyuvu.