Bya Ssemakula John
Bukomansimbi
Ssaabasajja Kabaka akungubagidde omukadde omukazi azaalira Katikkiro omukyala, kati omugenzi Robinah Nagawa Walakira aziikiddwa ku kyalo Kawoko e Bukomansimbi ku Lwomukaaga
Mu bubaka bwe bwatisse omumyuka w’Omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda, Owekitiibwa Ahmed Lwasa, ategeezezza nga omugenzi bw’abadde empagi mu bulamu bwa mukyala Margret Mayiga era nasaasira Katikkiro Mayiga ne mukyala we Margret olw’okuvibwako maama.
Ate ye Kattikiro wa Buganda Owek.Charles Peter Mayiga yeebazizza abakadde abamuzaalira omukyala olw’okumukuza nga muntu mulamu era omugumiikiriza.
“Kyannaku nti maama agenze naye kya mukisa nti ensigo gyeyasiga yabala ate n’abaana mu bawulidde nti bajja kwongera okugifukirira esobole okubala,” Kamalabyonna Mayiga bw’ategeezezza.
Ye akulira ekibiina ky’ebyobufuzi ekya National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi Ssentamu asinzidde mu kuziika kuno nasaba abavubuka naddala abali ku mutimbagano okwewala okuvvoola ekitibwa kya Buganda kuba kino kyongera okutematema mu bannayuganda.
Ono avumiridde ettemu erisusse mu ggwanga era naloopera Katikkiro Mayiga nga bwewaliwo olukwe okusanyawo abantu ab’eggwanga erimu mu Buganda nga kino kizze kyeyolekera mu kutemula abantu abanene abava mu kitundu.
Akulira oludda oluvuganya mu Palamenti, Omubaka Mathias Mpuuga Nsamba ategeezezza nti maama ono ye yasobola okusiga ensigo ennamu mu mukyala afumba ewa Katikkiro Mayiga era asobodde okumutuusa ku binene.
Ono asabye abavubuka okulinnyisa omutindo basobole okuziba emyaganya egivaamu abantu abakulu, bakome okwebala mu bungi naye batandike okukola eby’ensonga.
Omukolo guno gwetabiddwako baminisita ba Kabaka, ababaka ba Palamenti, abamasaza awamu n’abantu abalala.