Bya Stephen Kulubasi
Kampala
Ab’ebyokwerinda balabudde Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity Platform, Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) ne bannabyabufuzi abalala abaawanguddwa mu kalulu ka 2021, okukomya okukozesa olulimi olukuma mu bantu omuliro.

“Wadde okwekengera kwe twalina okw’obutabanguko oluvannyuma lw’okulonda kugenda kukendeera, naye waliwo abaavuganya ku bwapulezidenti abakuma mu bantu omuliro nga bagamba nti akalulu kaalimu emivuyo n’okubbira.” Ochola bw’agambye.
Bino Ochola abyogedde leero ku Lwokusatu ng’abeebyokwerinda boogerako eri bannamawulire mu Kampala mu lukung’aaana olwetabiddwamu Minisita w’ensonga z’omunda mu ggwanga Jeje Odongo awamu n’abanene abalala.
Ono agambye nti ebigambo bano bye basaasaanya babikola mu bugenderevu nga baagala okutabula abantu basobole okwekalakaasa.
“Ng’abeebyokwerinda, ebigambo bino ebitaliko bujulizi, tubirabamu abakabi nti bisobola okutabula abantu mu bitundu ebyenjawulo. Bano tubalabula ku bigambo bino era ne tubasaba baddukire mu kkooti bwe baba nga beemulugunya.” Ochola bw’annyonnyodde.
Okulabula kwa Ochola kuzze nga waakayita olunaku lumu nga Kyagulanyi ategeezezza eggwanga nti yawangula akalulu wabula ne kabbibwa era ng’obuwanguzi buno waakubununula.
Okusinziira ku kakiiko k’ebyokulonda, Pulezidenti Museveni yawangula banne abalala abawera 10 n’ebitundu 58 % era n’abawa amagezi yenna atamatidde ng’alina obujulizi, okuddukira mu kkooti.
Okuva ku Ssabbiiti eyaddirira okulonda, abakuumaddembe mu langi ez’enjawulo baayiibwa ku nguudo za Kampala n’ebintundu ebirala okunyweza eby’okwerinda era nga Ssaabaduumizi wa poliisi Ochola agamba nti bano ku nguudo bakyaliko.
Ochola atenderezza bannayuganda olw’okukuuma emirembe mu kulonda n’ategeeza nti akalulu ka 2021 kaagenze mu byafaayo ng’akakyasinze okubeeramu emirembe bukya okulonda kubaawo mu Uganda.
Ono agamba nti wadde waaliwo abaali beeweze okubeera n’entegeka za ‘Plan B’ awamu ne bannabyabufuzi abasiga obukyayi, naye bannayuganda baasigala bakuumye emirembe.
Ategeezezza nti mu kulonda bapulezidenti mu ggwanga lyonna, baafuna emisango 250 gyokka egyekuusa ku kulonda, ekintu ekitabangawo.








