Bya Ssemakula John
Kampala
Ssaabaminisita Robinah Nabbanja ne Minisita w’ebibamba n’ebigwa tebiraze awamu n’abanoonyi b’obubudamu, Hillary Onek bakkirizza obutakkaanya bwabwe okubuteeka ebbali bakolere abantu.
Bano enzikiriziganya bagituuseeko ku Lwokuna era ne bakakasa mu maaso g’omumyuka wa Pulezidenti, Jessica Alupo nga bwe bagenda okukolera bannayuganda.
“Tubadde n’olukiiko oluwanvu era bakkaanyizza okukolera awamu. Tukkiriziganyizza ensonga ezimu tuzireke emabega ku lw’obulungi bw’eggwanga kuba ffenna tuli muntu omu.” Alupo bw’ategeezezza oluvannyuma lw’ensisinkano eno etakkiriziddwamu bannamawulire.
Olukiiko luno lubaddemu n’omumyuka wa Ssaabaminisita owookubiri, Gen. Moses Ali awamu n’akulira abakozi ba gavumenti era omuwandiisi wa Kabineeti, Lucy Nakyobe, Minisita Chris Baryomunsi, Ssaabawolereza Kiryowa Kiwanuka awamu ne Minisita omubeezi ow’ebigwa tebiraze, Esther Anyakun.
Olukiiko luno luddiridde okulumagana wakati wa Ssaabaminisita Nabbanja ne Hillary Onek ng’entabwe eva ku ngeri Ssaabaminisita gy’akolamu emirimu gye, Onek ky’agamba nti kimumazeeko emirimu era yavuddeyo n’alaga nga bw’ayinza okulekulira.
Onek abadde alumiriza Nabbanja olw’obutamuyita mu nkiiko ezikwata obutereevu ku Minisitule ye kyokka ate n’ayita abakozi, Onek b’atwala wabula Nabbanja yategeeza nga Onek bw’asussizza obunafu nga n’okuteeka ebbaluwa eraga obutali bumativu ku mutimbagano kyabadde kiraga obutaba na mpisa.
Kati ekirindiriddwa kwe kulaba oba abakulu bano banaakwatagana nga bwe beeyamye emirimu ne gisobola okutambula obulungi.