Bya Ssemakula John
Ssaabalabirizi w’Ekkanisa ya Uganda, Dr. Stephen Kaziimba, asabye poliisi y’eggwanga okufulumya alipoota ku batemu abaagezezzaako okutemula Gen. Katumba Wamala bwe baba baagala ensi okusigala ng’ebakkiririzaamu.
Bino Kaziimba abitegeezezza bannamawulire ku makya g’Olwokusatu mu lukung’aana lwa bannamawulire n’alaga obutali bumativu ku bantu abazze battibwa mu ngeri eno naye ne wabulawo wadde alipoota emu efulumizibwa.
“Buli ebikolwa bwebiti bwe bibeerawo, poliisi ekola omulimu gwayo ogw’okunoonyereza bulungi nnyo, naye ekigirema kwe kutuwa alipoota. Ndowooza abantu beetaaga okumanya ekituufu nga bakiggya mu alipoota, kijja kuyamba okuzza obwesige bw’abantu mu poliisi.” Kaziimba bw’agambye.
Ono yennyamidde olwa bannayuganda abatakyasa kitiibwa mu bulamu bwa bannaabwe ky’agamba nti kino kikyamu.
Kaziimba era akubagizza Gen. Katumba olw’okufa kwa muwala we era n’asaasira ne famire ya ddereeva Haruna Kayondo abaafiiridde mu bulumbaganyi buno.
Bino we bijjidde ng’omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga, yategeezezza eggulo ku Lwokubiri nga bwe baatandise okunoonyereza okuzuula abaabadde balumbye Gen. Katumba Wamala.