Bya Ssemakula John
Kampala
Ssaabalamuzi Alphonse Alphonse Owiny-Dollo alabudde enjuyi zombi mu musango oguwakanya obuwanguzi bwa Pulezidenti Museveni mu kalulu ka 2021 okukomya okutiisatiisa abalamuzi ba kkooti ensukkulumu.
Ssabbiiti ewedde, ab’ekibiina kya National Unity Platform nga bakuliddwamu Robert Kyagulanyi Ssentamu batiisatiisa okuggyayo omusango gwabwe singa abalamuzi basatu be balumiriza okukolagana ne Museveni banaagulemeramu.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2021/02/mmmm.png)
Kyagulanyi alumiriza Ssaabalamuzi Alfonse Owiny-Dollo, Omulamuzi Mike Chibita ne Ezekiel Kurabiraho Muhanguzi okubeera n’enkolagana n’omuwawaabirwa.
Olwaleero ku Lwokutaano, Ssaabawolereza wa gavumenti William Byaruhanga aloopedde kkooti ng’oludda oluwaabi bwe lutandise okutiisatiisa abalamuzi. “Kirabika waliwo enteekateeka okugezaako okulaga nti abalamuzi balina kyekubiira naye balina okumanya nti eno ye kkooti ensukkulumu mu ggwanga era balina okugiwa ekitiibwa ekigisaanira.” Ssaabawolereza Byaruhanga bw’ategeezezza.
Ssaabawolereza agamba nti ebigambo ebyayogedde Kyagulanyi mu mawulire tebyakoleddwa mu bwesimbu.
Bannamateeka ba Kyagulanyi bwe baabuuziddwa ku nsonga zino baategeezezza nga bwe batazimanyiiko era nga baazisanze mu kkooti.
Mu kwanukula, Ssaabalamuzi Owiny Dollo ategeezezza nti tebagenda kutiisibwatiisibwa era balina essuubi nti omusango guno gwakukwatibwa mu bwenkanya.
“Bwe wabaawo omuntu yenna alina okwemulugunya ku balamuzi, akikolere mu kkooti naye bwe munaalowooza nti musobola okututiisatiisa oba Ssaabalamuzi okudda ku ludda lwabwe oyo ajja kutomera.” Ssaabalamuzi bw’annyonnyodde. Owiny- Dollo agamba nti ekigendererwa kye ekikulu kwe kulaba ng’abali mu musango guno bafuna obwenkanya era nga tewali kigenda kumulemesa.
Ono agamba ebigambo bya Kyagulanyi tebiriimu mpeke era bannayuganda tebalina kubiwa makulu.
“Bw’oba totwesiga totuleetera misango gyo. Bw’oba olina entegeka zo eza ‘Plan B’ genda mu maaso nazo tetugenda kukulemesa. Enkola za kkooti zawuka ku by’obufuzi.” Ssaabalamuzi bw’afundikidde.