Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda omulonde, Rt. Rev.Dr. Stephen Kazimba Mugalu asisinkanye Katikkiro wamu ne Kabineeti ya Ssaabasajja Kabaka ku Bulange.
Ensonga y’ensisinkano eno kwekukomawo ku butaka okulaba nga anyweza enkolagana y’Ekkanisa n’obwakabaka mu buvunaanyizibwa bwe obuggya obwamukwasiddwa nga Ssaabalabirizi wa Kanisa ya Uganda.
Ssaabalabirizi Kazimba agamba abadde ateekwa okudda embuga kubanga enjiri gyebasomesa abantu yatandikira ku Ssekabaka Muteesa 1 bweyateeka omukono ku bbaluwa eyakkiriza abaminsane okujja okubuulira enjiri yaabwe.
Katikkiro Charles Peter Mayiga munsisinkano eno yebaziza nnyo Ssaabalabirizi olw’obuteerabira nsibuko ye era nagamba nti kisanyusa era kiwa essuubi okulaba nga eddiini n’obwakabaka gyebikoma okutambulira awamu gyebijja okukoma okudda ku ntiko.
Katikkiro agasseeko nti Ssaabalabirizi Kazimba ye mukuristo atuukiridde kuba nga alina okwagala eri abantu, ayagala Ekika kye ekye Mpindi, era yenyingira mu nteekateeka z’obwakabaka.
Ensisinkano eno yetabiddwamu ba minisita ba Kabaka okuli Omumyuka wa Katikkiro ow’okubiri era Minisita w’ebyensimbi Owek Robert Waggwa Nsibirwa, Omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda Owek Patrick Luwagga Mugumbule, Minisita w’amawulire, Lukiiko, Kabineeti,Abagenyi Era Omwogezi w’obwakabaka Owek Noah Kiyimba, Minisita w’abavubuka emizannyo n’okwewummuzaamu Owek Henry Sekabembe Kiberu, Minisita omubeezi ow’ebyobulimi n’obwegassi Owek Hajji Amis Kakomo
Ssaabalabirizi awerekeddwako, Omuwandiisi wobulabirizi Rev. Canon Rocky James Ssendegeya, Omukubiriza wabakuristaayo mu bulabirizi Norah Mbabazi, n’omukungu John Fred Kiyimba Freeman.
kinajjukirwa nti nga 28th August 2019, Rt. Rev.Dr. Stephen Kazimba Mugalu yalondebwa ku bwa Ssaabalabirizi w’Ekanisa ya Uganda ow’omwenda (9) era nga agenda kuddira Ssaabalabirizi Stanley Ntagali mu bigere. Rt. Rev.Dr. Stephen Kazimba Mugalu abadde Bishop owa Mityana Diocese era asuubirwa okutuuzibwa nga Ssaabalabirizi omujjuvu nga 1st March 2020.