Bya Ssemakula John
Kampala
Ssaabaduumizi wa poliisi, John Martins Okoth Ochola, alagidde akakiiko akakola ku by’okulinnyisa abapoliisi amadaala okutunula mu ky’okukuza abaddusi b’emisinde; Joshua Cheptegei ne Peruth Chemutai, olw’okukola ennyo ne bawanika bbendera y’eggwanga mu misinde gy’ensi yonna egya Olympics egya 2020, egyayindidde mu kibuga Tokyo ekya Japan.
Kino kiddiridde Cheptegei ne Chemutai okuwangulira Uganda emidaali gya zzaabu mu mpaka za mmita 3000 ez’abakyala awamu ne mmita 5000 mu baami ne basobozesa Uganda okukwata ekifo kya 24 ku mawanga 54 agasangibwa mu Africa ate n’ekwata kya 35 mu nsi yonna mu mawanga 206 ageetabye mu mpaka zino.
Okusinziira ku Ochola, abaddusi bano tebakoma ku kuwanika bbendera ya Uganda kyokka n’eya poliisi ne bagikuumira waggulu.
“Ndi musanyufu n’enkola y’abaddusi baffe. Emidaali gya tuyambye okusinga amawanga amalala nga; South Africa, Nigeria, Botswana, Ethiopia n’amawanga amalala.” Ochola bw’agambye.
Ochola yakakasizza nti ebiseera by’eggwanga eby’emisinde bitangaavu era poliisi ejja kwongeramu amaanyi okusiima abo bonna ababeera bataddewo omutindo mu mpaka ez’enjawulo.
“Ng’enda kugoberera okukuzibwa kw’abazannyi bano n’akakiiko ka poliisi akakola ku kwongeza amadaala.” Ochola bw’annyonnyodde.
Ochola era asiimye Gen. Kale Kayihura olw’omusiguzi gwe yateekawo mu by’emizannyo mu poliisi ogusobozesezza abalina ebitone okuyitimuka.
Kinajjukirwa nti okwaka oguwedde, Cheptegi yakuzibwa mu poliisi n’atuuka ku ddaala lya ‘Assistant Inspector of Police’ ng’ava ku lya ‘Inspector of Police’ oluvannyuma lw’okumenyawo likodi mu misinde gya mmita 10,000 egyali e Valencia mu Spain wabula lino tannalifuna olwa fayiro ye okubaako ebikyabulako.
Kino kitegeeza nti amannya ga bano gagenda kuweerezebwa eri omukulembeze w’eggwanga basobole okulinnyisibwa amadaala.