Bya Ssemakula John
Ttiimu ya South Sudan ey’omupiira gw’ebigere eya Bright Stars, ewangudde Uganda Cranes, ggoolo 1-0 mu mupiira oguyindidde mu kisaawe kya Nyayo Stadium mu kibuga kya Kenya -Nairobi.

Uganda Cranes yayingidde omupiira guno ng’eyagala buwanguzi okusobola okukiika mu mpaka za AFCON, wabula peneti ekubiddwa Tito Okello ewadde South Sudan obuwanguzi obusookedde ddala mu mpaka zino.
Wiiki eweddde Uganda Cranes yakubye South Sudan mu kisaawe kya St. Marys Stadium e Kitende, naye nga Uganda okukubwa South Sudan olwaleero ku Mmande, kigitadde mu mbeera enzibu.
Mu mupiira gwa leero, omusambi Khalid Aucho aweereddwa kkaadi emyufu mu ddakiika ya 32 oluvannyuma lw’okusika omusambi wa South Sudan. Mu ddakiika endala 5 wabaddewo ekisobyo ekikoleddwa era ne kivaamu penati eteebeddwa Okello.
Wadde Uganda Cranes yakoze enkyukakyuka bw’eggyeeyo Emmanuel Okwi n’ereeta Farouk Miya naye abasudani baggyeeyo n’agomu buto.
Mu ddakiika ye 80, Omusambi wa Sudan, Abdallah Asad Musa, afunye kkaadi emyufu, bw’etyo Uganda Cranes n’ekozesa omukisa guno okunoonya ggoolo naye nebigaana.
Emipiira emirala egisambiddwa mu kibinja B, Burkina Faso eremaganye ne Malawi nga tewali alabye katimba ka munne. Burkina Faso y’ekulembedde ekibinja n’obubonero 8, Uganda Cranes erina 7, Malawi 4 ne South Sudan 3.
Uganda yeetaaga okufuna obubonero 4 mu mipiira 2 egisigaddewo bw’eba yaakukiika mu AFCON, Uganda ezzaako Burkina Faso ekulembedde ekibinja mu Gwokuatu nga 22 omwaka ogujja ate era esembyeyo Malawi nga 30 Gwokusatu.








