Bya Noah Kintu
Kampala
Kkooti enkulu mu Kampala esazizzaamu ekiragiro ky’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) olw’okugaana okuwa Sodo Aine Kaguta bbendera y’ekibiina gye yali awangudde mu kamyufu ka Mawogola North.
Omulamuzi Musa Ssekaana bw’abadde awa ensala ye ku Mmande, agambye nti kyali kikyamu akakiiko akakola ku kwemulugunya ne Ssaabawandiisi wa NRM okusazaamu obuwanguzi bwa Sodo nga beesigama ku nsala y’akakiiko eyalimu ebirumira.
Sodo yalumiriza nga bw’ataweebwa mukisa kwewozaako ng’akakiiko kasalawo okumuggyako kkaadi era okusinziira ku mulamuzi Ssekaana kino aba NRM tebaakiwakanyizza.
Sodo yali yawaabira ekibiina kya NRM ne munne bwe bavuganya ku bubaka bwa Mawogola North, Shartsi Nayebare Kutesa Musherure ng’agamba nti yawangula kkaadi mu mazima kyokka ekibiina ne kirangirira nti tekisimbyewo muntu mu Mawogola North.
Kinajjukirwa nti mu mwezi gw’Omwenda eyakulira okulonda kwa NRM mu disitulikiti y’e Ssembabule, George William Katokoozi, yalangirira Sodo Aine Kaguta ku buwanguzi n’obululu 17343 ate Shartsi nafuna 16104, ng’omugate gwali gwa 1239 sodo gwe yasinza Shartsi ate Kisekka Salim n’abuukayo 4274.
Oluvannyuma Musherure yaddukira mu kakiiko akaateekebwawo okutunula mu kwemulugunya kuno wabula ate akakiiko k’ekibiina ak’oku ntikko akamanyiddwa nga CEC kaalangirira ng’ekibiina bwe kitasimbyewo muntu mu kitundu kino kkooti ky’egambye nti kyali kikyamu.
Bw’abadde ayogera ku nsala ya kkooti, Sodo asabye abawagizi be okusigala ku mulamwa gw’okunoonya akalulu basobole okuwangula akalulu.
Okulonda kw’ekitundu kino kwasooka kwongezebwayo emirundi ebiri oluvannyuma lw’abawagizi okuva ku njuyi zombi okwegwa mu malaka.