• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

‘Sisobola kudda ku kifo kya mumyuka wa Sipiika,’ Oualanyah alayidde

Gambuuze by Gambuuze
May 19, 2021
in Amawulire
0 0
0
‘Sisobola kudda ku kifo kya mumyuka wa Sipiika,’ Oualanyah alayidde
0
SHARES
77
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John
Kampala

Omubaka wa Omoro mu Palamenti omulonde, Jacob Oulanyah, alayidde nga bw’atasobola kudda ku kifo kya mumyuka wa Sipiika nga kano ke kaseera naye atuuleko mu ntebe ennene ey’Obwasipiika.

Bino okubyogera, Oulanyah abadde awaayo woofiisi n’emmotoka gy’abadde atambuliramu ku mirimu emitongole oluvannyuma lw’ekisanja kye okuggwaako enkya ya leero. Oulanyah abadde anyumidde essuuti ya bbulu bw’amaze okuwaayo ebintu bino n’ayogerako eri bannamawulire mw’ategeerezza nti ekifo kya Sipiika kyokka kye yeetaaga mu kiseera kino.

“Bino bintu bya gavumenti era ekisanja kyange kiweddeko leero. Sisobola kusigaza bintu bya gavumenti ate nga si kyali mumyuka wa Sipiika.” Oulanya bw’ategeezezza n’alayira nti talabawo mukisa kuddamu kufuuka mumyuka wa Sipiika. Ono abadde ku kifo ky’omumyuka wa Sipiika okumala ebisanja bibiri okuli ekya 2011-2016 ne 2016 -2021.

Bino we bijjidde ng’akakiiko k’ebyokulonda mu NRM eggulo kaasabye bammemba bonna abaagala okuvuganya ku bwasipiika n’omumyuka we mu Palamenti y’e 11, okuteekayo okusaba kwabwe mu butongole basobole okusunsulwamu.

Oulanyah ali ku mbiranye ne mukama we Rebecca Kadaga ku ani anaaweebwa kkaadi ya NRM, basobole okuttunka n’abalala okuli omubaka Ibrahim Ssemujju Nganda ne Munna Democratic Party, Richard Ssebamala, abamala edda okulaga obwetaavu bw’okutwala ekifo kino.

Ekirindiriddwa kwe kulaba ani akabondo ka NRM ak’ababaka abalonde gwe banaasalawo okukwatira ekibiina kyabwe bbendera okusobola okufuuka Sipiika.

Oulanyah agamba nti bakkaanya ne Sipiika Kadaga ku kisanja ekyaggwa n’amulekera nga guno naye gwe mukisa gwe okutwala ekifo kino.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist