
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Omukubiriza w’ Olukiiko lwa Buganda, Owek. Patrick Luwaga Mugumbule asabye abantu ba Kabaka bulijjo okujjumbira enteekateeka ez’enjawulo ezireetebwa okubakulaakulanya bweba baagala okukyuusa obulamu bwabwe ne Buganda edde ku ntikko.
Okusaba kuno Owek. Mugumbule abuweeredde ku mukolo gw’okutikkula Oluwalo okuva mu Bannabuddu oguyindidde mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri.
Owek.Mugumbule abakuutidde bulijjo okufaayo okutuukiriza obuvunannyizibwa bwabwe eri Beene n’Obwakabaka kyagambye nti kyakwongera okukuuma n’okunyweza Nnamulondo n’okutwala Buganda mu maaso.

Ye Ssaabawolereza wa gavumenti ya Buganda era Minisita wa gavumenti ez’ebitundu mu Bwakabaka, Owek. Christopher Bwanika akubiriza abaami ba Ssaabasajja okuba ekyokulabirako eri abantu be bakulembera okukuuma ekitibwa kya Nnamulondo.
Bo Abaami b’eggombolola ezikiise embuga balaze ebimu ku bibasomooza omuli ekibbattaka awamu n’obwavu obuli mu bitundu byabwe wabula nebawera okusigala nga baweereza Nnamulondo.

Abamu ku bakulembeze mu gavumenti eyawakati abeetabye mu nteekateeka eno, baweze okwongera okunyweza enkolagana nObwakabako kyoka nebasaba gavumenti okusoosowaza eby’obulimi kubanga mpagi nnene ey’okuleetawo enkulaakulana.
Oluwalo oluleeteddwa luweza obukadde bwa silingi 19 nomusobyo nga buvudde mu ggombolola 4 ezimu ku zikola essaza Buddu.









