
Bya Shafik Miiro ne Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Owek.Patrick Luwagga Mugumbule asabye abazadde okukuliza abaana ku nnono n’obuwangwa byabwe kibayambeko okumanya obuvo n’obuddo bwabwe.
Sipiika Mugumbule agamba nti lino ly’eggwanga ery’ enkya nga singa bakula n’omutima ogwagala ebyabwe Buganda yakwongera okuggumira.
Bino abyogedde bw’abadde akiikiridde Katikkiro Charles Peter Mayiga okutikkula Oluwalo okuva mu ggombolola ezenjawulo ezivudde e Bulemeezi, Bugerere , Busiro ne Kyaddondo kwosa n’amasomero agenjawulo, bano bakiise nga bano baleese n’Oluwalo lwa bukadde 45.
Owek. Mugumbule era awadde abazadde amagezi okunnyikiza obukozi mu baana kibayambe okukula nga balimu ensa.

Kulwa Minisita wa Gavumenti Ez’ebitundu, Owek. Joseph Kawuki, Mnisita w’Enkulaakulana y’Abantu Ebyenjigiriza, Ebyobulamu n’Ensonga za woofisi ya Nnaabagereka Owek.Cotilda Nakate Kikomeko yeebaziza abakiise embuga olwokumanya obuvunaanyizibwa bwabwe ate nebafaayo okubutuukiriza .
Abaami be ggombolola banjudde alipoota ku ntambuza y’Emirimu mu ggombolola zebakulembera era baliko byebaloopye embuga.
Eggombolola ya Mutuba IV Makulubita Bulemeezi yeridde akendo mu malala. Enteekateeka ya Luwalo Lwaffe ebaawo buli wiiki nga eno nnono etuukiriza abantu ba Buganda okubaako etofaali lye bagatta mu nsawo yObwakabaka okuyambako mu ntambuza y’emirimu.









