Bya Ssemakula John
Kampala
Sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga, ayise Minisita w’ensonga z’omunda mu ggwanga atangaaze ku nsonga z’okukuba ttiyaggaasi mu b’ekika ky’Embogo.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/10/Kadaga-1024x542.png)
Ono alagidde Minisita w’ensonga z’omunda, Gen. Jeje Odongo, alabikeko mu palamenti annyonnyole eggwanga ekituufu ekyavaako okulumba abataka n’okubakubamu ttiyaggaasi wakati nga bali mu kitambiro kya Mmisa ku butaka bwabwe.
Ekiragiro kino Sipiika akiyisizza leero ku Lwokubiri oluvannyuma lw’omubaka w’ekibuga ky’e Mityana, Francis Zaake okusaba palamenti eyingire mu nsonga eno kubanga aduumira Poliisi y’e Mityana, Alex Mwine Mukono, assusizza okulinnyirira eddembe lya bannansi mu kitundu kino.
“Twabadde twambadde obukookolo era nga tugoberedde bulungi amateeka, abantu abaabaddewo baabadde waka waabwe, era kyabadde tekyetaagisa. Kyensaba Owek. Sipiika, ye Minisita w’ensonga z’omunda mu ggwanga okwetonda olwekyo kye baakola era awummuze ne DPC Alex Mukono Mwine kubanga ebikolwa nga bino azze abikola naye nga takubwa ku mukono,” Omubaka Zaake bw’asabye.
Ab’Embogo baabadde bakung’aanye okwebaza Katonda olw’obuvunaanyizibwa bwa Jjajja Kayiira Gajuule Kasibante ng’omukubiriza w’abataka okumala ebbanga lya myaka musanvu era nga Mmisa yabadde ekulembeddwa Omusumba wa Masaka eyawummula, John Baptist Kaggwa wabula nga bano poliisi yabakubyemu ttiyaggaasi olw’ebigambibwa nti Omubaka Robert Kyagulanyi naye yabadde waakugwetabako.
Eggulo poliisi yavuddeyo ne yeetondera ab’ekika ky’Embogo awamu n’Eklezia Katolika olwebyo ebyaliwo naye n’etegeeza nti entabwe yavudde ku bategesi butasooka kutegeezaako poliisi.
Omwogezi wa Poliisi Ennanga yagambye nti, bafunye amawulire nti bannabyabufuzi okuli David Kalwanga ne Francis Zaake, baabadde baakwetaba mu nteekateeka eno era nga wakati nga baziyiza abavubuka abaabadde baagala okwegatta ku mukolo guno, ekizibu we kyavudde ttiyaggaasi n’asasaanira abakulu.
Ate ku Ssande Mukuumaddamula Charles Peter Mayiga yategeezezza nti ekikolwa kino kyabadde kikyamu kubanga obutaka bw’ebika bulinga masinzizo nga tebuboola mu ndowooza za byabufuzi.