Bya Gerald Mulindwa
Muyenga
Sipiika wa Palamenti Rebecca Alitwala Kadaga asabye bannayuganda okwongera okwekebeza ekirwadde ki Kkansa kibayambe okutandika eddagala nga obudde bukyali.
Kadaga yagambye nti, “Mu mwezi gwa March omwaka guno tewali yalowooza nti kijja kuba kimenya mateeka okukungaana nemudduka naye ekyokubanga emisinde gino egya Virtual Rotary Cancer Run giddukiddwa mu ngeri eno kabonero ka buwanguzi.”
Okwogera bino Kadaga abadde Muyenga leero ku Ssande nga asimbula emisinde gya Rotary Cancer Run egy’omwaka gwa 2020.
Kadaga yasiimye abavugirizi aba Centenary Bank nategeeza nga ekisigadd kwekulaba nga abantu basobola okwekebeza wansi mu byalo nebasobola okutandika obujjanjabi nga bukyali.
Ate yye Kamalabyonna Charles Peter Mayiga nga ono yagiddukidde mu Butikkiro yagambye nti, mu emisinde gino aba Rotary baluubirira okulaba nga bamanyisa abantu endwadde eno, okukungaanya ssente okuzimba bbanka oluvanyuma lwokumaliriza waadi wamu n’okutumbula eby’obulamu mu ggwanga
Mayiga yagambye nti, ” Mu kaweefube ono yenna waadi n’empuku (Banker) n’ekyuma twongerera mu buwumbi 18.5 era beetema okutuuka mu mwaka gwa 2025 nga omulimu guwedde. Woodi yazimbibwa nga kati balinawo obuwumbi 2.5 ssente zikyetaagibwa naye tubatendereza kubanga bamalirivu”
Katikkiro Mayiga yasabye abantu okubakwasizzaako kubanga ssente ezikyetaagibwa nnyingi.
Ate yye akulira Rotary mu Uganda ne Tanzania Rosetti Nabbumba Nayenga, yagambye nti kati kkookolo weyatuuka yafuuka kitundu ku ffe naye nasuubizza nti bakola buli kimu okulaba nga afuuka ekimu ku byayita.
Emisinde gino Mubunabyalo ku murundi guno giddukiddwa mu ngeri ya Sayansi era nga okujjako abantu abatono ababadde e Muyenga awabadde emikolo emikulu abalala baddukidde mu maka gabwe wamu n’ebitundu ebyenjawulo olwo nebeyunga butereevu ku mutimbagano gwa ZOOM