Bya Musasi Waffe
Kampala
Sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga, alagidde akakiiko akakola ku ddembe ly’obuntu okugenda e Kitalya okunoonyereza ku bigambibwa nti abasibe bangi batulugunyizibwa mu kkomera lino era baleete alipoota ku basibe abaliyo n’embeera mwe bali.
Kino kiddiridde omubaka w’ekibuga kya Mityana, Francis Zzaake, okutegeeza Palamenti nti abamu ku bawagizi b’ekibiina kya National Unity Platform abaggalirwa mu kkomera eryo bali mu mbeera mbi nga bangi ku bano bagaanibwa okulaba abasawo okubekebejja.
Bino we bijjidde ng’Omubaka omulonde owa Kawempe North, Muhammad Sseggirinya, yaakamala okuddusibwa e Nairobi mu Kenya nga kigambibwa nti ono yatulugunyizibwa byansusso bwe yali mu kkomera e Kitalya. Omubaka Zaake yannyonnyodde nti bwe yagenyiwaddeko mu kkomera e Kitalya okulaba abasibe baabwe, yabasanze mu mbeera mbi era nga beetaaga obujjanjabi obwamangu.
“Oluvannyuma lw’okumala akaseera ng’angaaniddwa okukyala e Kitalya, banzikirizza naye nasanze abawagizi baffe bali mu mbeera mbi nga balumizibwa mu lubuto, baweebwa akawunga akatayidde ate nga n’ebyobuyonjo biri mu mbeera mbi.” Zaake bwe yategeezezza palamenti ku Mmande.
Okusinziira ku Zaake, abasibe bwe balwala baweebwa Panadol nga tebafuddeyo ku kituufu ekibaluma.
Wano Sipiika Kadaga we yasinzidde n’alagira akakiiko k’eddembe ly’obuntu okugendayo badde ne alipoota.
“Twagala alipoota mu bwangu. Njagala okulagira akakiiko k’eddembe ly’obuntu okutunula mu nsonga eno.” Sipiika Kadaga bwe yannyonnyodde.