Bya Ssemakula John
Kampala
Kkooti ejulirwamu eyimbudde akulira abasiraamu abatabuliki Mohammad Yunus Kamoga ne banne bataano abaali basibwa amayisa ate n’abalala emyaka asatu ku misango egy’obutujju mu 2017.
Bano basingisibwa emisango gy’okukozesa ebigambo eby’ekitujju nga bye byavaako okutemulwa lwa Mustafa Bahiga ne Hassan Kirya wamu n’okugezaako okutemula Sheikh Haruna Jjemba.
Abalamuzi basatu aba kkooti eno nga bakulembeddwa Ssaabalamuzi Owiny Dollo, basazeewo nti oludda oluwaabi telwaleeta bujjulizi bumatiza kubanga ebikolwa eby’ekitujju tebitera kusosola muntu yenna ate nga ku bano si bwekyali.
Abalamuzi bano era balaze nga abajjulizi abaleetebwa mu kkooti enkulu okulumiriza bano tewali n’omu yali mu nkiiko abawawaabirwa zebagambibwa okutuuza nga bapanga okutta n’okulumba be bagambibwa okutta.
Kkooti era yakubye ebituli mu bupapula (Fliers) obugambibwa okusindikibwa nga buliko ammanya ga Sheikh Kirya ne Bahiga tekwali kalaga kigendererwa kyonna kya kubatta wadde okukola ebikolwa by’obutujju.
Kamoga yasingisibwa emisango awamu ne Sheikh Siraje Kawooya, Sheikh Murta Mudde Bukenya, Fahad Kalungi, Yusuf Kakande ne Abdul Salam Sekayanja.
Kkooti Sheikh Kamoga, Kawooya, Bukenya ne Kalungi yabasiba mayisa ate Kakande ne Sekayanja nebasibwa emyaka 30 mu kkomera.
Bano bali wamu n’abalala 14 abejeerezebwa emisango gy’okutta Sheikh Mustafa Bahiga ne Ibrahim Hassan Kirya wamu n’okugezaako okutta Haruna Jjemba.
Bannamateeka ba bawawaabirwa wamu nab’enganda bategeezezza nga bwebasanyukidde ensala eno era nebategeeza nga bwebalinzeeko balabe oba banaasaba okuliyirirwa.