Bya Musasi Waffe
Kampala
Minisita avunaanyizibwa ku nsonga za East Africa, Rebecca Alitwala Kadaga awakanyizza ebigambibwa nti ayagala kuvuganya ku ntebe y’obwapulezidenti mu mwaka 2026.
Ekiwandiiko ekyafulumiziddwa omwogezi wa Minisitule eno, Samuel Bishop, Kadaga agamba nti eng’ambo zino eziyiting’ana ku mutimbagano zigendereddwamu okwawula mu ggwanga naye ye ng’omuntu talina kye yeetaaza kifo kino.
“Wiiki ewedde, waliwo ebyabadde bitambuzibwa ku mutimbagano nga biraga ebifaananyi bya Kadaga ng’omu ku bagenda okuvuganya ku bwapulezidenti mu 2026. Ebifaananyi bino bye bimu byateekebwayo mu May wa 2021 era ensonga eno yamaze okuweebwa aba Uganda Communications Commission n’ebyokwerinda mu ggwanga.” Ekiwandiiko bwe kisomye.
Okusinziira ku Kadaga, ebifaananyi bino bijingirire ebigendereddwamu okutabula eggwanga era kati ayagala UCC ezuule abaabadde emabega w’okufulumya ebifaananyi bino era bavunaanibwe olw’okukozesa obubi omutimbagano.
Kinajjukirwa nti bwe yali mu kalulu ng’anoonya ekifo ku kakiiko akafuzi ak’ekibiina akamanyiddwa nga CEC ng ‘omumyuka wa Ssentebe w’ekibiina, Kadaga yagamba ye yali ensonga lwaki Pulezidenti Museveni akyaliwo olw’okuggyawo ekkomo ku myaka nga singa teyali ye, Pulezidenti Museveni yandibadde Rwakitura mu nte ze.
Wabula oluvannyuma lw’okusisinkana Pulezidenti Museveni, ebigambo bino yabyegaana.
Mu nsisinkano eno eyamalira ddala essaawa 5 nnamba mu maka g’Obwapulezidenti, ensonda ezeesigika zigamba Museveni yeesemba ebya Kadaga okumuyisaawo naddamu okuvuganya.
Kati Kadaga yafuuse omunene owookubiri okwesamba okuvuganya ku bwapulezidenti mu gavumenti ya Museveni ng’eyasooka yali eyali Ssaabaminisita Ruhakana Rugunda.
Oluvannyuma lw’akalulu ka 2021, n’okusuulibwa ku bwassaabaminisita, Rugunda yafuulibwa omubaka ow’enkizo mu woofiisi ya Pulezidenti.