Bya Ssemakula John
Mukono
Abazirakisa abeegattira mu Rotary Club ya Sunrise mu Kampala, badduukiridde essomero lya Ndwadde Mutwe e Mukono n’ebyetaagisa okutangira ekirwadde kya Ssennyiga Corona lisobole okuggulawo.
Minisita wa Buganda ow’ebyobulimi n’Obutonde, Owek.Nkalubo, asinzidde ku mukolo guno n’akubiriza abantu okwongera okufaayo okuyamba abalala era basimbe emiti okusobola okutaasa obutonde.
Oweekitiibwa asiimye emirimu egikolebwa banna Rotary mu ggwanga n’ategeeza nti bano bafaananira dda n’Obwakabaka mu kufaayo ku balala n’okulwanirira obutonde.
Gavana wa Rotary mu Uganda ne Tanzania, Rosette Nabbumba, annyonnyodde nti embeera essomero lino mwe libadde ye yabawaliriza okuvaayo babeeko kye bakola.
Nabbumba agasseeko nti basobodde okuddaabiriza ebibiina bisatu, okuteerawo essomero ttanka y’amazzi n’okubasimira Nayikondo kiyambeko okutumbula obuyonjo ku ssomero.
Ate ye akulira essomero lino, Rebecca Namaganda, ategeezezza nti wadde essomero lino liri ku musingi gwa gavumenti, naye liringa eryerabirwa kuba okuva lwe lyazimbibwa mu 1930 lyakaddaabirizibwa emirundi mibale nga n’obusolya ku bibiina ebimu bwavaako.
Namaganda annyonnyodde nti embeera essomero mwe libadde mbi nnyo ng’egenda kubalemesa okuggulawo naye ne yeebaza banna Rotary olw’obuyambi bwe babawadde.
Omukolo guno gwakomekkerezeddwa nakusimba miti ne kigendererwa eky’okutumbula obutonde bw’ensi.