Bya Gerald Mulindwa
Mityana
Mukyala wa Minisita Kyewalabye Male, Rosalind Kyewalabye, aziikiddwa olunaku lwaleero ku biggya bya bajjajja be e Kiweebya Mityana mu ssaza ly’e Ssingo wakati mu kitiibwa.

Rosalind Kyewalabye era y’abadde avunaanyizibwa ku by’ensimbi mu masomero ga Gombe Education Services, obwedda buli omu amutendereza olw’okubeera omukozi, ow’obuvunaanyizibwa era atya ennyo Katonda.
Mu kwogera ku mugenzi, Katikkiro Charles Peter Mayiga, ategeezezza nti obuweereza n’obuvunaanyizibwa Owek. Kyewalabye Male bw’azze atuukako, bubaddeko omukono gwa mukyala we Rosalind Kyewalabye.
“Tukusaba ogume, kikwetaagisa okwekung’aanya osobole okukuza abaana baffe bano, olina okuguma odde okole emirimu gya Ssaabasajja Kabaka kubanga Kabaka bamuyita Mufumbyagganda n’antabalirira batyabi.” Mayiga bw’amugambye.
Ono asabye abavubuka okuwasa nga bukyali kibayambe okwetegeera n’okwesigagana nga Rosalind ne Kyewalabye bwe babadde, olwo kibayambe okukulaakulana.
Mayiga asaasidde Owek. Kyewalabye Male n’abaana kubanga kizibu okunnyonnyola obulumi obuli mu kufiirwa omukyala ne maama.
Ate Ssaabalabirizi Stephen Kazimba Mugalu ye awadde abakungubazi ebigambo by’okwefumiitirizaako n’ategeeza nti, “Omuntu azaalibwa omukazi wa nnaku si nnyingi era ajjudde obuyinike, amulisa ng’ekimuli n’atemebwa era adduka ng’ekisirize so tabeerera.”
Kazimba Mugalu asaasidde Owek. Kyewalabye n’abaana n’Obwakabaka bwa Buganda olwokufa kwa Rosalind Kyewalabye era n’asaba Mukama okubagumya.
Minisita Kyewalabye Male ategeezezza bakungubazi nti abasawo baabategeeza nti bwe baali bamulongoosa, yavaamu omusaayi mungi era baamuleeta nebamulaba era abasawo ne babakakasa nti ali bulungi.
Minisita Kyewalabye agambye nti mukyala we buli kye yali yeetaaga okukola nga maama yakikola era ng’omukyala mu maka yatuukiriza obuvunaanyizibwa bwonna.
Amwogeddeko ng’abadde omukyala omugumu mu buli mbeera ate omugoberezi wa Krisito era ng’aliko emirimu emikulu gy’akoze eri ekkanisa ate nga bw’atuuka okwagala abaana abato ayitawo.

Abaana b’omugenzi batenderezza obuvumu n’obukozi bwa nnyaabwe era nga n’ekiseera we yabeerera mu ddwaliro wadde embeera yatuuka n’etabuka ng’abasawo banoonya omusaayi okuguteekako naye nga tebagulaba.









