• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Pulezidenti Museveni y’aba yeetondera Obuganda si muntu mulala –Owek. Muliika

Gambuuze by Gambuuze
October 19, 2020
in Agafa e Mengo
0 0
0
Pulezidenti Museveni y’aba yeetondera Obuganda si muntu mulala –Owek. Muliika
0
SHARES
67
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis Ndugwa

Bukoto

Eyali Katikkiro wa Buganda, Daniel Muliika ategeezezza nti, Pulezidnti Museveni y’alina okuvaayo okwetondera Obuganda ku by’okukuba Omutaka Kayiira Gajuule ne bazzukulu be ttiyaggaasi so si muntu mulala yenna.

Eyali Katikkiro Daniel Muliika

‘Singa yabadde mukulembeze owa waggulu nga ye yakyogedde, aduumira bali nandikitegedde, naye omukulembeze eyatugamba nti bino ebiganda, ebiganda yasirise, oli mukazi wattu eyeetonze ndowooza yayagadde kukkakkanya bantu oboolyawo yabadde alina abamuvuma e Mityana,” Muliika bw’agambye.

Okwogera bino Owek. Muliika abadde asisinkanye bannamawulire abamusanze e Bukoto mu maka ge leero ku Mmande nga ayogera ku byaliwo ku Lwomukaaga n’okwetonda kwayogerera Poliisi mu bitundu bye Wamala Racheal Kawala.

Owek. Muliika annyonnyodde nti omuntu yenna avaayo n’akwata ku bataka, Buganda abeere agikutte mu maaso era nga singa okwetonda okukoleddwa kwabadde mu mutima mulungi, abamu ku bapoliisi abaabadde emabega w’ekikolwa kino bandibadde batemeza mabega wa mitayimbwa, naye tewali kye baabakoze.

Ono ajuliza ebigambo bya Museveni bye yakozesa ng’alabula abamu ku bantu mu Buganda b’agamba nti baawulayawula mu bantu, n’ategeeza nti abaganda okubeera abaganda tegubeerangako musango mu ggwanga lino.

“Naye Pulezidenti bw’ayima ku ttivvi n’atugamba nti bino ebyeyita ebiganda, neki.. neki, Kakati bw’omala okwogera ebintu ebyo netulaba kye wakoze omutaka, kitegeeza abaganda tetukyayagalwa mu Uganda,” Muliika bwe yeewuunyizza.

Ono ategeezezza nti wandibaawo ekkobaane okusaanyaawo Buganda kubanga batandise okugirumba n’awatali nsonga era ng’ebikolwa ekika kino bye byaliwo ne mu 1966 nga Obote alumba Obuganda nga yeekwasa ensonga ezitaali ntuufu.

Muliika agambye nti okusinziira ku bifaananyi ebyafulumidde mu mawulire, ekifo ku kiggwa awaabadde wategekeddwa omukolo kyabadde kigazi ng’abantu beewadde bulungi amabanga, banaabye engalo era nga balina n’obukookolo.

Agasseeko nti, bano baabadde tebalina tteeka lyonna lye baabadde bamenye, naye nebakubwa ttiyaggaasi kubanga omu ku bazzukulu, Omubaka Robert Kyagulanyi yabadde agenda kugendayo ekitulaga nti tewakyali mateeka gafuga.

Owek. Muliika alaze okunyolwa olw’ekifaananyi kya poliisi ekyongera okwonooneka buli kaseera nga kati omuntu okugenda mu poliisi abeera yeesudde mu nyaga.

Owek. Muliika yennyamidde olwa Buganda gy’agamba nti yasangulwa ku maapu ya Uganda n’esikizibwa ekigambo ‘Central,’ ekitegeeza amasekkati naye n’atangaaza nti Buganda tebeerangako mu masekkati kubanga etandikira ku nsalo ya Tanzania n’ejja ng’eyambuka.

Bino we bijjidde ng’omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Ennanga yaakamala okwetondera ab’Embogo n’Omusumba w’e Masaka eyawummula John Baptist Kaggwa, olw’ebyo ebyabaddewo.

 Ennanga omusango yagutadde  ku bategesi b’omukolo b’agamba nti tebaasoose kutegeezaako kakiiko kalwanyisa COVID-19 ne poliisi mu kitundu kino.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.