Bya Ssemakula John
Kampala
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni asuubizza okuwaayo obuyambi bw’ensimbi eri bannayuganda abakolera wamu n’okubeera mu United Arab Emirates, kibayambe okwongera okwekulaakulanya.
Bino Museveni yabyogeredde mu nsisinkano gye yabaddemu n’abakulembeze abeegattira mu kibiina kya The Association of Ugandans living in United Arab Emirates (AUU) ku wiikendi, nga yawerekeddwako omumyuka owookusatu owa Ssaabaminisita, Lukia Nakadama ku St. Regis Hotel e Abu Dhabi mu United Arab Emirates.
Museveni yabasuubizza okuteeka ssente mu SACCO yaabwe basobole okwewola ku magoba amatono.
“Tugenda kubawa ssente. Ng’enda kuteeka emitwalo gya ddoola 10 mu SACCO yammwe musobole okwewola n’okutandika bbizineesi wano. Ate kyo ekibiina kyammwe ng’enda kukiteekamu emitwalo 5.” Pulezidenti Museveni bwe yagambye.
Museveni era yasuubizza nga bw’agenda okukola ku kizibu kya bannayuganda abakukusibwa okuleetebwa mu kitundu kino, n’ategeeza nti kabineeti yasazeewo okuteekawo ekifo we bayinza okusooka okukuumira abaana bano ababeera babonyaabonyezebwa n’okununulwa.
Ono era abasabye okusikiriza bannaabwe okwegatta ku kibiina kino kuba UAE erimu bannayuganda abawerera ddala emitwalo 6 era bano baweereza mu Uganda ssente ezisoba mu bukadde bwa ddoola 200 e Uganda buli mwaka.
Ssentebe w’ekibiina kino, Nsubuga Abdulbasit yasabye Pulezidenti Museveni okusitukiramu ku nsonga y’abaana abawala abali ku nguudo za Dubai kuba wadde babadde babayambako naye oluusi balemererwa.
Nsubuga yannyonnyodde nti wadde emabegako omuwendo gwa bannayuganda ababadde beetuga gwali gulinnya, naye kati gubadde gukendedde.
Ensisinkano eno yeetabiddwamu ne Ambasada wa Uganda mu United Arab Emirates, Zaake Kibedi.