
Bya Francis Ndugwa
Kakyeeka – Mbarara
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni alabudde okwekolera ku bakulu bamasomero naddala aba gavumenti abayongeza ebisale nga bagamba nti banoonya ssente zakusasula abasomesa aba ‘Arts.’
Okulabula kuno Pulezidenti Museveni akukoze ku Mmande ku mukolo gw’okukuza emyaka 42 bukya ggye lya UPDF litandikibwawo okununula bannayuganda.
Ono annyonnyodde nti yafunye amawulire nga bwewaliwo abantu abayongeza ssente nga bagamba nti zakuwa abasomesa ba Arts abatasobola kwongerwa musaala okuva mu gavumenti.
“Mpulidde nti abamu ku bakulu b’amasomero bwebayongeza ssente okusasula abasomesa ba Arts naye kamale okufuna amawulire gonna mu bujjuvu mulabe kyengedde okubakola, kati mwagala abaana b’abanaku bavve mu ssomero kuba tebalina ssente abasomesa zebaagala?” Museveni bw’abuuzizza nga ali ku mukolo guno.
Pulezidenti Museveni yeewuunya lwaki abasomesa balemeddwa okugumiikiriza gavumenti ebongeze mu kiseera ekituufu. Kinajjukirwa nti Pulezidenti Museveni azze alwana wabeewo okusoma okw’ obwerere mu Pulayimale ne Sekendule wadde abamu ku bakulu b’amasomero bakyagenda mu maaso n’okusasuza abayizi ssente mu masomero ga gavumenti.
Ono annyonnyodde nti kabineeti erina byeyasazeewo ku nsonga y’ebisale ebirina okusasulwa era mu bwangu eggwanga ligenda kumanya ekyasaliddwawo.
Mungeri y’emu, Pulezidenti Museveni alabudde eggye lya UPDF okwewala okuddamu ensobi ezaakolebwa amajje ga gavumenti ezaayita.
Okusinziira ku Pulezidenti Museveni gavumenti ezaayita abantu baazikyawa era y’ensonga lwaki NRA yasobola okulwana olutalo neluwangula.
“Twasobola okuzimba eggye mu bwangu kuba abantu baali bakooye okutulugunyizibwa, gavumenti y’abafuzi bamatwale ne ggye lya UNLA. Mulina okubeera abeegendereza singa mukola emize gy’ amagye gy’okutulugunya abantu n’okulya enguzi nammwe bagenda ku bakyaawa,” Pulezidenti Museveni bw’annyonnyodde.









