Bya Ssemakula John
Kampala
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni akungubagidde Pulezidenti wa Chad Idriss Deby Itno eyattiddwa abayeekera nabagamba nti Afirika nga Ssemazinga afiiriddwa nnyo.
Deby yalangiriddwa ku Lwokubiri lwa wiiki eno nti yafudde oluvannyuma lw’okufuna ebisago ebyamaanyi bweyali agenze mu lutalo gyezivugira wakati w’abayeekera n’abajaasi ba gavumenti.
Mu bubaka bwe obukubagiza, Museveni atenderezza Deby nga munywanyi we gwagenda okusubwa era nagamba nti kya nnaku okuba nti yafudde mu nfa bwetyo.
“Ebizibu ebyagudde e Chad bimenya omutima. Nsaasira bannansi ba Chad, famire ya Pulezidenti Idris Deby Itno wamu naabo abaagaliza Africa ebirungi,” Museveni bw’agambye.
Museveni annyonnyodde nti Pulezidenti Deby abadde tadduka kusomoozebwa kwonna naddala okwa bannalukalala era yafudde akikola.
Deby abadde munywanyi wa Museveni era y’omu ku bakulembeze b’amawanga 14 abeetaba mukulayiza Pulezidenti Musevebi mu 2016 ku kisaawe e Kololo.
Era ne Deby bweyali alayira mu August wa 2016 ku kisanja kye eky’okutaano Pulezidenti Museveni yaliwo bulungi nnyo mu kibuga ekikulu N’Djamena.
Kinajjukirwa nti amawulire g’okufa kwa Deby gafulumye wakayita ennaku mbale nga alangiriddwa nga omuwanguzi w’akalulu k’obwapulezidenti akakubiddwa ku ntandika y’omwezi guno.
Ono abadde amaze mu buyinza emyaka 30, obubonero bwonna bulaga nti mutabani we, Gen Mahamat Idriss, yalondeddwa dda okukulira akakiiko k’amajje akagenda okukulembera eggwanga eryo okumala emyezi 18.