Bya Ssemakula John
Kampala
Munnamateeka Prof. Frederick Ssempebwa alabudde gavumenti obutayingirira ttaka lya Mayiro nga Pulezidenti Museveni ne Minisita we, Sam Mayanja bwe baalaalise, kuba ekizibu kiri ku banene ababba ettaka ne bacanga ebyapa era emivuyo giri ku bika by’obwannannyini byonna.
“Obwannannyini bw’ettaka bwonna bulimu obuzibu, obwannannyini obwa Freehold nabwo bwannannyini era nakwo ojja kusangako abeesenzezzaako ate era ne liizi ojja kusangako abasenze, kino ekya basenze tekiri ku Mayiro kwokka.” Prof. Ssempebwa bwe yategeezezza.
Omukugu Ssempebwa era agamba nti tewali bwetaavu kuleeta mateeka mapya ku ttaka kuba amateeka agaliwo malungi geetaaga kimu ku galeka kukola awatali kuttira muntu yenna ku liiso.
Ono abawadde amagezi nti bwebaba baagala okubaako ennongoosereza gye bakola mu mateeka gano, bagiyise mu bantu so si Palamenti era singa balemerako ne baleeta amateeka agaggyako abantu obwannannyini gajja kuwakanyizibwa bannansi kubanga gamenya Ssemateeka.
Prof. Ssempebwa annyonnyodde nti bwe baali bakola Ssemateeka bekkaanya nnyo amateeka agalung’amya ku by’ettaka ne bavaayo n’enteekateeka ennungi, wabula obuzibu buvudde ku ngeri abakwasisa amateeka gano gye bagakuttemu nga kati abalina okuyamba abantu ate be bagobaganya.
Ono era agugumbudde akakiiko k’Omulamuzi Catherine Bamugemereire akaateekebwawo okunoonyereza ku mivuyo gy’ettaka, k’agambye nti kaalekerera omulimu ogwakaweebwa ne kadda mu kulwana entalo ezitakakwatako.
Prof. Ssempebwa alabudde abaagala okutwala ettaka lya Bugand, balabire ku byafaayo kuba ebintu bwe bikyuka gavumenti n’ekyuka, ettaka lijja kuddira bannyini lyo abatuufu nga bwe kyali nga Idi Amin avuddeko.
Ono atenderezza Obwakabaka olw’okuleeta enkola ya Kyapa mu Ngalo kuba enkola eno esobolera ddala bulungi okumalawo emivuyo ku ttaka.
Asabye abantu okugyettanira kuba mu mbeera yonna omuntu okufuna obwannannyini ku ttaka lyonna abeera alina okusasulayo ku ka ssente n’abawa amagezi obutawubisibwa.
Bino we bijjidde nga Kamalabyonna Charles Peter Mayiga yaakamala okulabula gavumenti obutazannyira ku ttaka lya Mayiro kuba si kye kizibu era n’akakasa nga bwe watali muntu yenna agenda kwetikka ttaka lya Buganda, abeeko gy’alitwala.