Bya Ssemakula John
Kampala
Eyaliko Omulamuzi wa kkooti ensukkulumu, Prof. George Wilson Kanyeihamba, atutte Ssentebe w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM), Yoweri Kaguta Museveni mu kkooti etaputa Ssemateeka ku by’okuggyawo okweyimirira ku misango eminene ky’agamba nti bano bayitiridde okuzannyira ku Ssemateeka nga bakola ennongoosereza buli we babeera baagalidde.
Bw’abadde ku kkooti eno enkya ya leero, Prof. Kanyeihamba ategeezezza nti waakukola buli kimu okulaba nga bannayuganda basigaza eddembe lyabwe.
“Omusango guno gukwata ku Y.K Museveni n’ekibiina kye ekya NRM abagezaako okutyoboola Ssemateeka eyakolebwa oluvannyuma lw’olutalo lw’okwenunula. Tulina okukuuma Ssemateeka ono nga bannayuganda era ndi mwetegefu okufa nga nkikola.” Prof. Kanyeihamba bw’ategeezezza.
Kanyeihamba ayozezza ku mmunye n’agamba nti Ssemateeka wa 1995 yava mu kuyiwa musaayi oluvannyuma lw’okugoba obwannakyemalira ng’agamba nti, ne bwe kiba kitegeeza kufa ng’alwanirira eddembe lya bannansi kigenda kuba.
Kati Prof. Kanyeihamba ayagala kkooti etaputa Ssemateeka esazeemu ekiteeso kya Pulezidenti Museveni eky’okuggyawo okweyimirira abantu ku kakalu ka koooti, ng’agamba nti kimenya mateeka era kirinnyirira eddembe ery’obuntu.
Okusinziira ku Kanyeihamba, mu musango guno y’agenda okwewolereza kuba bannamateeka abalala be yakola nabo empaaba, omusango bagudduseemu nga bagamba nti tebasobola kwang’anga Pulezidenti Museveni mu musango guno ogulabika nga gujjudde ebyobufuzi.
“Omu ku omu ku bannamateeka bange badduse mu musango guno. Nabakubidde essimu okutuuka ekiro ekikeesezza olwaleero, ng’amasimu gaabwe tegaliiko ate abalala tebagakwata era bonna beekwese. Bwe twabadde mu woofiisi ya bannamateeka mu Kampala nga tugenda okukuba ebirayiro, 8 ku bano baagaanye nga bagamba nti omusango guno ogw’okulwanirira eddembe ly’okweyimirira gulimu ebyobufuzi naye nze sirabamu byabufuzi.” Kanyeihamba bw’agambye.
Kanyeihamba alangidde Museveni okwekyusiza mu kiti ng’embazzi n’ava ku miramwa gye bakkaanyaako nga yaakakwasibwa entebe y’eggwanga. Wabula ku mulundi guno aweze nga bw’atagenda kumukkiriza kuddamu kutigatiga Ssemateeka wa ggwanga.
Prof. Kanyeihamba era akoowodde abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu n’enfuga egoberera amateeka naddala abakyali bamusaayimuto, okuvaayo bamwegatteko mu kutaasa Ssemateeka w’eggwanga.
Bino we bijjidde, Kabineeti ng’eri wamu ne Pulezidenti Museveni, baakamala okukkiriziganya okuggyawo eddembe ly’okweyimirirwa ku misango eminene nga Museveni agamba nti tekola makulu batemu kweyimirirwa ate ng’abakolwako obulabe bali magombe.
Wabula bannabyabufu n’abalwanirizi b’eddembe, kino bakiwanya nga bagamba nti gavumenti eyagala kukijjaganya bannabyabufuzi awamu n’abalwanirizi b’eddembe ng’ebasibako emisango gino okuli; ettemu, okulya mu nsi olukwe, okuwamba abakyala n’emirala.