• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Prof. Bukenya alabudde Nabbanja obutanyiiza bamafiya mu gavumenti

Gambuuze by Gambuuze
August 26, 2021
in Amawulire
0 0
0
Prof. Bukenya alabudde Nabbanja obutanyiiza bamafiya mu gavumenti
0
SHARES
121
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kampala

Eyali omumyuka wa Pulezidenti, Prof. Gilbert Bukenya awadde Ssaabaminisita Robinah Nabbanja amagezi okwewala okuyingirira bamafiya  abali mu gavumenti ng’akola emirimu gye kuba singa anaabatambaala emirimu gigenda kumulema.

Okusinziira ku Bukenya, bamafiya mu gavumenti bangi nnyo era oluusi osobola n’okubayingirira ng’osazeewo okole ekintu ekituufu.

Okulabula kuno Bukenya akukoledde ku gimu ku mikutu gya Ttiivi mu Kampala leero ku Lwokuna.

“Nsabira Nabbanja. Era muwa amagezi agende mpola kuba abantu bano (bamafiya) tebaagala muntu yenna abayingirira.” Bukenya bw’annyonnyodde.

Bukenya ategeezezza nti bamafiya beenyigira mu buli wali obulyi bw’enguzi obwa ssente ennyingi era singa oli avaayo okubalemesa basobola okumukolako ne bw’aba yeeyita munene era tebaagalira ddala muntu ayagala kutereeza buweereza mu ggwanga lino.

Ono ajjukiza ensi nga bwe yagezaako okwasanguza bamafiya ng’akyali mu gavumenti wabula tewali yamuwuliriza.

“Bwe naboogerako tewali yafaako naye temuwulira n’abantu abalala nga boogera ku kizibu kino kye kimu kati?” Bukenya bw’abuuzizza.

Mu mwezi gwa July, 2021 Ssaabaminisita Nabbanja yategeeza bannamawulire nga bwe waliwo abantu abatannategeerekeka  abaamuweereza obubaka  nga bamusaba okwesonyiwa okubayingirira bw’aba ayagala obulamu.

Share this:

Tags: Gilbert BukenyaRobinah Nabbanja
  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist