Bya Ssemakula John
Buddu
Omwami wa Kabaka atwala essaza Buddu, asabye abaami abaggya abaalondeddwa okukulembera essaza lino, okukolera awamu basobole okuyamba okuzza Buganda ku ntikko.
Bino byogeddwa omumyuka wa Ppookino owookubiri, Paineto Yiga bw’abadde ku mukolo ogwokukyusa obukulembeze bw’Abaami b’eggombolola ez’enjawulo mu Buddu.
“Ensonga Ssemasonga ettaano, ezo kwe tutambulira okutambuza emirimu gy’Obwakabaka era ensonga eyookutaano ye y’obumu. Era nkakasa bwe tutambula awamu tujja kutereeza.”
Akulira eby’okuzimba mu ssaza Buddu, Kizito Kawonawo asabye abalondeddwa okukuuma ettaka ly’amagombolola.
“Omwami ow’eggombolola, okukuuma ettaka ky’olina okusookerako nga tonnakola kirala kyonna.” Kaawonawo bw’annyonnyodde.
Ssentebe wa disitulikiti y’e Kalungu, Nyombi Mukiibi abaalondeddwa abakuutidde okunywera era bakimanye nti Buganda lwazi nga tebulinga bibiina byabufuzi omuntu by’asobola okukyusa akadde konna w’ayagalidde.
Omwami eyaweereddwa okukulira eggombolola ya Mumyuka Kalungi, Nsimbe Vincent yeebazizza Beene olw’obuvunaanyizibwa bwe yamukwasizza era ne yeeyama okufaafagana n’abaagala okutwala ebintu by’Omutanda mu makwetu.
Ate ye awaddeyo obukulembeze bw’eggombolola eno, Busuulwa Polito, agamba nti babadde bakolera mu bugubi kuba ebimu ku bintu ebyaddizibwa Obwakabaka nga woofiisi ez’enjawulo, ebisumuluzo baabawa bikyamu nga tebirina we biggula.