Bya Ssemakula John
Lubaga
Omutukuvu Ppaapa Francis alonze Bisoopu w’essaza lya Kasana Luweero, Paul Ssemwogerere okugira ng’akuuma essaza lya Eklezia erya Kampala okutuusa nga Ssaabasumba omujjuvu alondeddwa. Kino kirangiriddwa omubaka wa Ppaapa mu Uganda, Ssaabasumba Bianco Luigi ku mukolo gw’okuziika Ssaabasumba Lwanga ogubadde ku Lutikko e Lubaga olunaku lwaleero ku Lwokuna.

Mu bubaka bwe, ono asaasidde Eklezia mu Uganda n’ensi yonna olw’okufiirwa Dr. Cyprian Kizito Lwanga. Okusinziira ku Bianco, Omusumba Ssemwogerere, essaza ly’e Kampala agenda kuliddukanya ku lwa Ppaapa ng’etteeka ly’Eklezia nnamba 371 bwerirambika.
Akulira olukiiko lw’Abepisikoopi mu ggwanga, Omusumba Anthony Zziwa, annyonnyodde nti okulondebwa kwa Bisoopu Ssemwogerere mu kifo kino tekulina ngeri yonna gye kukosaamu kifo ky’abaddeko ng’Omusumba w’essaza lya Kasana Luwero. Wabula ono agenda kulembera essaza lino n’okulirambika mu ntambuza y’emirimu okutuusa Ppaapa lw’anaalonda Ssaabasumba omujjuvu.
Kino kiddiridde Ssaabasumba Lwanga okufa ku Lwomukaaga oluvannyuma lw’okufuna obuzibu ku mutima era ono baamusanga mu kisenge kye nga yafudde dda.








