
Bya Ssemakula John
Lubaga
Omutukuvu Ppaapa Benedict XVI aziikiddwa olwaleero ku Lwokuna wakati mu Nnamungi w’omuntu akungaanye ku Saint Peter’s Square okumuwerekera.
Ebidde bikubiddwa wakati nga abamu ku bannaddiini n’abaweereza ababadde basitudde omulambo gwa Paapa okugufulumya Basilica wakati nga Bakalidinaali ababadde bambadde eminagiro emimyuufu batunula mu nnyike ey’amaanyi.

Mu Uganda wabaddewo ekitambiro kya mmisa mu lutikko e Lubaga ekulembeddwamu omubaka wa Paapa mu Uganda Ssaabasumba Luigi Bianco nga yeetabiddwamu abantu ab’enjawulo okuli; Abeepisikoopi, bannaddiini, ababaka ba Palamenti awamu n’abantu ba bulijjo.
Bw’abadde ayogerako eri abakkiriza, Katikkiro Charles Peter Mayiga asaasidde Ekleziya Katolika olw’okufa kwa Ppaapa Benedict gw’ayogeddeko ng’omukulembeze omulungi eyakola ennyo okunyweza ennono Kleziya kweyimiridde.
Mu bubaka bwe, Katikkiro atenderezza nnyo Ppaapa Benedict XVI, olw’obwetowaze n’obunyiikivu bwe yayolesa mu bukulembeze bwe, n’asaba abakulembeze abalala okumulabirako, babeere beetowaze, bawulirize abantu. Abakuutidde n’okuba abanyiikivu basobole okutuusa be bakulembera ku buwanguzi.
Ye Ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala, Paul Ssemogerere ategeezezza nti omugenzi ye muntu eyali yekkiririzaamu mu buli kyakola era buli kyeyakola yali akulembeza Katonda.
Ye Ssentebe w’Olukiiko lw ‘Abeepisikoopi mu, Omusumba Anthony Zziwa asaasidde nnyo Paapa Francis n’omubaka wa Paapa mu Uganda olw’okuvibwako mukwano gwe nayogera ku mugenzi ng’omuntu alwanye olutalo olulungi nga ajja kusigala nga ajjukirwa.

Okusaba kwetabiddwako abakungu ab’enjawulo okuli; Omubaka wa Italy mu Uganda Massimiliano Mazante; Oweek Mulwanyammuli Ssemwogerere; Hon. Mathias Mpuuga, Oweek Mitimbo Gonzaga Kagumba, bannaddiini, Oweek Nakate Cotilda, bannabyabufuzi, abakungu, n’abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo .
Ppaapa Benedict XVI yafa nga 31 Decemba 2022 ku myaka 95 wabula ajjukirwako ekyafaayo ng’omu ku ba Ppaapa abatono abakalekulira obuvunaanyizibwa buno.









