Bya Musasi Waffe
Kampala
Poliisi mu disitulikiti y’e Oyam, yakutte n’eggalira omumyuka wa Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity Platform (NUP), Dr. Lina Zedriga eggulo ku Lwokuna.
Zedriga yakulemberamu Kyagulanyi ku ntandikwa ya Wiiki eno, okusaggula obululu mu bitundu by’Obukiika Kkono era ng’eggulo ku Lwokuna, baabadde balina okukuba enkung’aana mu disitulikiti okuli; Oyam, Apac wamu ne Lira.
Akwatidde ekibiina kya NUP bbendera, Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) yategeezezza nti Dr. Zedriga yakwatiddwa ku biragiro by’atwala poliisi mu ttundutundu lino, Paul Nkore ku bigambibwa nti yabadde atisse abantu bangi mu mmotoka ye.
Bwe yalabiseeko eri Nnamungi w’omuntu mu Oyam, Kyagulanyi yagambye nti DPC Nkore yabadde tayinza kukyebeera olw’obuwagizi bwe bafunye kwe kusalawo akwate Dr. Zedriga n’abawagizi baabwe.
Twakitegeddeko nti Dr. Zedriga yabadde akuumirwa ku poliisi ye Lolo era nga we bwazibidde olunaku lw’eggulo, ng’akyali mu kaduukulu.
Kyagulanyi yategeezezza nti kyabadde kikyamu era nga kikwasa ensonyi okuggalira Dr. Zedriga mu kaduukulu akatono ennyo n’abasajja, ekintu ekitakkirizibwa mu mateeka.
Oluvannyuma lw’okulambula n’okugumya Dr. Zedriga, Kyagulanyi yeeyongeddeyo mu disitulikiti y’e Apac gye yakubye olukung’aana lwe olw’okubiri olunaku lw’eggulo.
Mu kwogera mu lukung’aana, Kyagulanyi yeeyamye okuddiza abantu b’ekitundu kino ebintu byabwe ebizze binyagibwa mu ntalo era n’asuubiza okukola ku nguudo, obwavu n’okufunira abavubuka b’ekitundu kino emirimu.
“Sirina kubuusabuusa nti tugenda kuwangula akalulu kano, kye tubasaba kimu mukuume akalulu kammwe, bwe mumala okulonda temugenderawo waka, musigalewo okutuusa ng’akalulu kammwe bamaze okukabala.” Kyagulanyi bwe yategeezezza.
Olunaku lwaleero Kyagulanyi asuubirwa okubeera mu bitundu okuli; Kaabong, Kotido ne Moroto era ng’asaba akalulu akanaamutuusa ku bwapulezidenti.