Bya Musasi waffe
Kkooti Enkulu etuula e Kampala egambye kyali kya bumenyi bw’amateeka Poliisi ya Uganda okuwera ebivvulu by’omuyimbi Bobi Wine.
Bobi Wine yali wakubeera n’ebivvulu eby’enjawulo omwaka oguwedde ku biikiye eya One Love beach e Busaabala mu Kyaddondo nga bitegekebwa Bassaabavvulu Abtex ne Bajjo.
Ebivvulu bino era byali byakwetooloola eggwanga lyonna mu disituliki nga Lira, Gulu, Arua n’endala wabula Poliisi yabiyimiriza ng’egamba nti byali bikozesebwa mu kukuba kampeyini.
Bobi Wine ng’amannyage amatuufu ye Robert Kyagulanyi Ssentamu ye mubaka akiikiriria obuvanjuba bw’essaza Kyaddondo.
Ono yalagadda nti agenda kwesimbawo okuvuganya pulezidenti Museveni mu kalulu k’omwaka ogujja.
Omulamuzi Esther Nmabayo abadde mu mitambo gy’omusango guno alagidde abawawaabirwa okusasula ssente zonna ezisaasanyizibbwa mu musango guno.