Bya Ssemakula John
Kampala
Abapoliisi n’amagye bazinzeeko ekitebe ky’ekibiina kya National Unity Platform ekisangibwa e Kamwokya mu Kampala.
Omukutu guno gukitegeddeko nti ab’ebyokwerinda olutuuse ku kitebe kino nebatandika okwagala okuyingira munda nga bagamba nti baagala kumanya ekibadde kigenda mu maaso munda mu kizimbe ky’ekibiina kino.
Okusooka akakiiko k’ekibiina akamanyiddwa nga ‘NUP Executive Board kasoose kusisinkana bavubuka nebabaako ensonga ez’enjawulo ze beegeyaamu naddala ezeekuusa ku kunoonya akalulu.
We tukoledde eggulire lino ng’amagye ne poliisi bayingidde munda mu woofiisi z’ekibiina era nga baatandise dda okukyekebejja n’okubaako bye banoonya.
Ebisingawo ku ggulire lino tubireeta.