Bya Ssemakula John
Kampala
Minisita wa tekinologiya wamu n’okulung’amya eggwanga mu gavumenti eyaawakati, Judith Nabakooba, ategeezezza nti poliisi tegenda kukkiriza muntu yenna kukuba biriroliro nga bw’ebadde enkola.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/12/Fire-use1.jpg)
Abantu okwetooloola ensi yonna olunaku lwa 31 December beesunga okukuba ebiriroliro okusiibula omwaka 2020 ate baanirize omwaka omupya ogwa 2020.
Nabakooba bwe yabadde ayogerako eri bannamawulire nga bw’akola buli ssabbiiti, yagambye nti ebiriroliro bireetera abantu okukung’aana awamu n’amasanyu amangi, ekintu ekitasobola kukkirizibwa mu mbeera eno eya Ssennyiga Corona.
“Tubasaba musigale mu maka gammwe omwaka mugulindire eyo n’abantu bammwe. Tukozese omukisa guno okudda eri Katonda era tumwebaze olw’okutuyisa mu 2020 era tusabe 2021 abeere wa mukisa,” Minisita Nabakooba bwe yagambye.
Minisita Nabakooba yalabudde nti abantu balina okwegendereza kuba ebiragiro byonna ebya Minisitule y’ebyobulamu ku kirwadde kino weebiri nga 31 Decemba era nga tebasuubira bantu kukung’aanira wamu.
“Ebikujjuko n’ebivvulu ebyaniriza omwaka omuli endongo, okusaba okw’ekiro byonna tebikkirizibwa kuba bisobola okusajjula embeera ya Ssennyiga Corona,” Nabakooba bwe yagambye.
Kinajjukirwa nti ebivvulu byonna ebitaba abantu mu ggwanga byaggalwa mu mwezi gwa March 2020 mu kaweefube wa Pulezidenti Museveni gwe yaliko okutangira ekirwadde kya Ssennyiga Corona okusaasaana mu ggwanga.
Wadde Pulezidenti Museveni azze addirizaamu ku biragiro bye yawa, naye ab’ebivvulu n’amabaala, essaala z’ekiro abadde akyabalese ku muggalo mu lutalo lw’aliko olwa Ssennyiga ono omukambwe.