Bya Betty Namawanda
Rakai – Kkooki
Omubaka omukyala owa Rakai, Juliet Ssuubi Kinyamatama, alidde matereke ne poliisi ku ttaka ly’e Kyakago ne Kasese mu ggombolola y’e Kibanda, ng’entabwe eva ku poliisi kuwa bukuumi abagambibwa okulitwala ku kifuba.
Ettaka lino liwerako yiika ezisoba mu 600 nga kuliko abatuuze abasoba mu 1000 naye nga mu kiseera kino likaayanirwa Kazungu, Erias Ndawula ne Emmanuel Gakwandi wamu n’abatuuze.
Gye buvuddeko nga 28 omwezi oguwedde, Omulamuzi wa kkooti ento e Rakai, Patrick Kityo yawa; Fred Kazungu, Erias Ndawula ne Emmanuel Gakwandi, olukusa okwerula empenda ku ttaka lino wadde ng’abatuuze bagamba nti abasatu bano bakozesebwa Munnamagye Captain Godfrey Kalamuzi ali mu lukwe lw’okutwala ettaka ly’abatuuze.
Omubaka Kinyamatama olutegedde nti Munnamagye Godfrey Kalamuzi, ayungudde abaserikale kwe kugenda ku byalo bino era eno asanze poliisi ekubye enkambi mu maka g’abatuuze era ng’esimbye enkondo ku bibanja ebiri ku ttaka lino era wano we batandikidde okuwanyisiganya ebisongovu.
Abatuuze okuli Thomas Byamungu ne mukyala we, Maria Kyomugisha, bagamba nti bawangaalira mu kutya olwa poliisi okusalako amaka gaabwe era ne basaba Gavumenti okuvaayo eyingire mu nsonga zaabwe.
Bano olunwe balusonze mu bakulu ku disitulikiti, okuli amyuka akulira abakozi era nga ye muwandiisi ku lukiiko lw’ettaka, Edward Kamya, okuwa munnamagye ettaka lino mu bukyamu. Wadde ng’ono agamba nti we yajjira mu woofiisi mu 2018, ettaka lino lyali lyagabwa dda mu 2014.
Kinyamatama aweze okugenda mu maaso n’okulwanirira abatuuze n’ategeeza nti wadde tebalina byapa, naye ate tekibalemesa kufuna bwenkanya.