• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Poliisi etandise omuyiggo gw’ abakoze efujjo mukuziika Jakana Nadduli

Gambuuze by Gambuuze
October 25, 2022
in Amawulire
0 0
0
Poliisi etandise omuyiggo gw’ abakoze efujjo mukuziika Jakana Nadduli
0
SHARES
27
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Nakaseke

Poliisi y’eggwanga etandise omuyiggo ku bawagizi ba NRM naba NUP abalwanidde mu maka ga Hajji Abdul Nadduli bwebabadde baziika mutabani we Jakana Nadduli eyafudde olunaku lw’eggulo ku Mmande.

Jakana Nadduli yasangiddwa mu makaage nga afiridde mu buliri wabula abantu ab’enjawulo  naddala bannabyabufuzi batandise okubaako bebasongamu nga bagamba nti balina kyebamanyi ku nfa ya Jakana.

Era wano  Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yalagidde wabeewo okunoonyerea ku nfa ya Jakana ensi esobole okutegeera ekituufu.

Wabula eggulo mu kumuziika e  Kadunda – Kapeeka mu Nakaseke aba NRM nga bakuliddwamu Mpologoma Majjambere balwanaganye naba NUP oluvannyuma lwa Majjambere okubalemesa okwogera  era omukolo negusooka gusanyalalamu okumala akaseera.

Ekiwandiiko ekifulumiziddwa poliisi ku Lwokubiri, Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agamba nti batandise okunoonyereza ku fujjo lino awamu n’akabinja k’abavubuka akamu akeefudde ekirala mu kutabangula emirembe.

“ Waliwo aba Opozison abeeyisa mu ngeri etasaana ku mikolo gy’okuziika. Tulabula abantu bano era tubakowoola okwewala embeera eno kuba si ya buntubulamu,”  Enanga bw’agambye.

Ono  alabudde  abo bonna ababadde bakola kino okwewala okutabiikiriza eby’obufuzi mu kufa n’ ennyimbe kuba akaseera kano tekasosola era tekasanaamu bukyaayi.

Enanga agamba nti bagenda kunoonya buli muntu eyakoze  efujjo ekika kino ewa Nadduli asobole okusimbibwa mu mbuga z’amateeka era avunaanibwe.

Enanga agamba nti abakugu bapoliisi bamaze dda okugenda mu ddwaliro lye Nakasero ewali abamu ku bakoseddwa nga ebiwundu byebafunya byakuyamba nnyo mukunoonyereza kwebaliko nga  Poliisi.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist