Bya Musasi Waffe
Kampala
Ssaabaduumizi wa Poliisi ya Uganda, Martin Okoth Ochola, eragidde ekitongole ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango okubuuliriza ku katambi akasaasaanidde emitimbagano ng’Omubaka Simeo Nsubuga aliko gw’atiisatiisa okumutta singa takomya kwogereza bamunoonyeza bululu ng’ayagala okubatwalira amuvuganya.
Okusinziira ku mwogezi wa poliisi alaze okutya olwa Nsubuga eyali omupoliisi, amanyi amateeka okulaba ate nga y’atandise okutiisatiisa abantu olwa kalulu.
Kino kiddiridde Nsubuga okuwangulwa Micheal Muhumuza mu kamyufu ka NRM, era nategeeza nti agenda kwesimbawo ku lulwe kubanga akalulu ke kali kabbiddwa naye nga obuwangizi abulina wansi mu bantu.
Akatambi akogerwako kalimu eddooboozi erigambibwa okubeera erya Simeo Nsubuga ng’alabula omuntu gw’ayita Ssonko.
“ Nfunye amawulire okuva mu kitundu kyange nti okubira abanoonyeza akalulu ng’obagamba nti Muhumuza abaagala. Nkusaba nga muganda wange, okyali muvubuka muto ate nga n’abaana bo bakyali bato. Sirina gwe ntumye naye nkulabula weesonyiwe omuntu gwe bayita Simeo Nsubuga, togamba nti saakugamba. Eno ensonga ya bulamu na kufa, nkulabudde misana.” Nsubuga bw’agambibwa okulabula mu katambi era Ssonko amuddamu kimu nti, “Kale Ssebo.”
Ennanga ategeeezza bannamawulire nti bayise Nsubuga ne Ssonko bannyonnyole ebiri mu katambi kano era n’alabula ne bannabyabufuzi abalala okunoonya akalulu mu mirembe.
Ku nsonga y’omuliro ogwayoka ekizimbe ky’e Makerere, Ennanga agambye nti babadde baakufuna alipoota ekwata ku kyavaako omuliro guno ku Lwokusatu naye tekyasobose naye basuubira okugifuna mu bwangu ssabbiiti ejja era baakutegeeza ensi ku binaaba bizuuliddwa.
Kinajjukirwa nti omwezi oguwedde nnabambula w’omuliro yakwata ekizimbe kya ‘Main Building’ negusaanyaawo woofiisi y’omumyuka wa Cansala, woofiisi enkulu ey’ebyensimbi awamu n’endala.
Ennanga era ategeezezza bannamawulire nga bwetandise okunoonyereza ku nsonga y’omuyimbi Buchaman ku by’okutulugunya omuyimbi Rocky Giant era n’amutiisatiisa okumutta wamu n’abaana be.