Poliisi ya Uganda eyimirizza ebijaguzo eby’emyaka 15 eby’ekibiina ky’ebyobufuzi ekya Forum for Democratic Change [FDC] ebibadde bigenda okubeera mu disitulikiti y’e Rukiga ne Rubanda mu bugwanjuba bwa Uganda.
FDC yabadde etegese enkungaana ku kisaawe ky’essomero lya Nyeikunama primary school mu kabuga k’e Muhanga mu disitulikiti y’e Rukiga saako n’ekisaawe kya Murore mu Kabuga k’e Rubanda mu disitulikti y’e Rubanda.
Omubaka w’ekibuga ky’e Rukungiri mu palamenti era nga ye mumyuka wa pulezidenti wa FDC atwala ekitundu ky’obugwanjuba Roland Kaginda yaabadde asuubirwa okuba omugenyi omukulu ku mikolo gy’e Rukiga ngate yye, Ingrid Turinawe abadde asuubirwa kubeera Rubanda.
Poliisi ekakkanya obujagalalo ng’ekulemberwa Aggrey Okumu yakedde kuyiibwa mu bifo byombi okuziyiza enkungaana zino okugenda mumaaso.
Ono yategeezezza nti yabadde tasobola kukkiriza nkugaana zino kugenda mumaaso kubanga abategesi baazo baazimutegeezezaako ng’obudde bugenze. Kyokka ye Kaginda yagambye nti poliisi baagitegeeza dda ku nkungaana zaabwe wabula netabaddamu.
Michael Kwarikunda Mbareeba, kamisona mu kisinde kya People’s Government ekikulemberwa munnamagye eyagannyuka Dr Kizza Besigye yategeezezza nti baatuukiriza obukwakkulizo bonna nga bwebulambikiddwa mu teeka erifuga enkukaana wabula beewunyiza nti ate poliisi yebeefuulidde.
Ate e Rubanda omuduumizi wa poliisi eruddeeyo Tai Ramadhan naye yategeezezza nti yabadde tategeezeddwako ku nteekateeka za FDC. Poliisi mu sabbiiti eziyise yalemesa aba FDC okukungaana e Jinja wamu ne Soroti mu buvanjuba bwa Uganda olw’esonga zeezimu.