Abeebitongole by’ebyokwerinda bali ku muyiggo gw’abantu abeeguumbulidde omuze gw’okukasukira emmotoka za gavumenti zi bbomu enkolerere.
Poliisi egamba nti kamera z’okukkubo zaakutte abantu bano nga bakasuka bbomu zino mu bifo ebyenjawulo mu bifo okuli Nateete, Busega n’e Katwe.
Mu kamu ku katambi omuvubuka alabibwa ng’atambulira ki ppikipiki eriko ennamba UEU 391F ng’alumba emmotoka ya gavumenti eriko ennamba UG 0450T nga June 23, 2020.
Ku katambi akalala bano balabibwa nga bayimiriza emmotoka ya gavumenti ennamba
UG 0182H.
Olwayimirira, bano baakuba endabirwamu ennyondo ekirungi ennyondo yagwamu era nebadduka.
Ate e Busage emmotoka namba UG 0199K, Toyota Fortune nga June 26, yakasukibwamu akantu akaabwatuka nekakwata omuliro ekirungi poliisi yasobola okuguzikiza.
Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango alowooza bano bakola bino okuwaliririza gavumenti okukkiriza Boda boda okuddamu okutikka abantu oluvanyuma lwokuwerebwa olwa coronavirus.
“Ebikolwa bino tebikkirizibwa era poliisi ekola bulikimu ekisoboka okulaba nga bano ebakwata bavunaanibwe ogw’okonona ebintu bya gavumenti.”
URN