• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Eby'obufuzi

Poliisi erabudde ku bamenyi b’amateeka abeefuula aba boodabooda

Gambuuze by Gambuuze
February 7, 2022
in Eby'obufuzi
0 0
0
Poliisi erabudde ku bamenyi b’amateeka abeefuula aba boodabooda
0
SHARES
63
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kampala

Poliisi mu ggwanga erabudde abantu bonna okwerinda abazzi b’emisango  abeerimbise mu kuvuga boodabooda naddala mu mbeera eno nga  zakkiriziddwa okuddamu okukola ekiro.

Pulezidenti Museveni ku Ssande yategeezezza nti okutandika ne Mmande ku kafyu abaddewo ow’essaawa 12 aggyiddwawo era kati ababoodabooda bakkirizibwa okuddamu okukola kinawadda oluvannyuma lw’okumala emyaka 2 nga tebakkirizibwa kukola nnyo olw’okutangira ekirwadde kya Corona.

Bw’abadde ayogerako ne bannamawulire leero ku Mmande, omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti abantu balina okuba obulindaala kuba ababoodabooda bano abazzeemu okukola ekiro tebamaze kusunsulwa nga mu bo mulimu n’abamenyi b’amateeka.

“Tufunye embeera y’abamenyi b’amateeka  okuyingira mu ba boodabooda era beenyigira mu bubbi, obutemu awamu n’okunyakula obusawo  awamu n’okubba Pikipiki.” Enanga bw’annyonnyodde.

Enanga asabye abantu okwewala ababoodabooda abalina ennamba ezitalabika bulungi nabo abayimirirayimirira naddala ekiro awamu nabo ababeerako bannaabwe nga babawondera.

Enanga alabula nti abo ababeera babavaako emabega babeera bazzi bannaabwe bwe bakola ebikolobero nga babeera balinda kimu kufuna mukisa basobole okubaako gwe banyaga.

“Abantu balina okubeera abeegendereza ekiro. Bw’oba otambulira ku boodabooda fuba okulaba nti owa boodabooda akozesa amakubo g’omanyi, tomuganya kumala  gayimirira kuba abamu ku bano beefuula Pikipiki zaabwe eziweddemu amafuta mulina okwegendereza.” Enanga bw’agambye.

Ono annyonnyodde nti waliwo akakodyo akapya nga bano bakyusakyusa ennamba zaabwe olwo ne batandika okuvuga abasaabaze olwo ekibinja kyabwe ne kibavaako emabega bwe batuuka mu kazikiza olwo ne banyaga.

Okusinziira ku Enanga abantu abawerako baloopye emisango ku poliisi nga balumiriza aba boodabooda okubabba ate abalala bafiiriddwa obulamu olw’abeefuula aba boodabooda.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist