Bya Jesse Lwanga
Mukono
Poliisi mu bitundu by’e Mukono erabudde abatuuze mu kitundu kino, okukomya ebikolwa by’okukuba basajja baayo wamu n’okubakolako effujjo nti bagenda kubavunaana mu mateeka.
Kino kiddiridde abatuuze ku kyalo Nakapinyi mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono, okutwalira amateeka mu ngalo mu kiro ky’eggulo ne bakuba abapoliisi ababadde ku bikwekweto amayinja, omu n’atwalibwa mu ddwaliro ng’ali mu mbeera mbi.
Entabwe yavudde ku bapoliisi bano okufuuza amabaala ne batandika okukwata abantu be baasanzeemu olw’okumenya ebiragiro bya Ssennyiga Corona.Bano baatandise okubakuba amayinja era okukkakkana ng’omu ku bapoliisi addusiddwa mu ddwaliro ng’ali bubi.
Eyalumiziddwa ye Gerald Mulokozi ng’akolera ku poliisi y’e Mukono naye ng’ebiseera ebisinga abadde akola ku kkamera.
Ono yaddusiddwa mu ddwaliro lya CPR okuliraana poliisi era ng’abasawo baategeeezezza nga bwe yafunye ekiwundu ekinene ku mutwe, naye nga bakola kyonna okulaba nga bamutereeza.
Aduumira poliisi y’e Mukono, Abubaker Musiho, yasinzidde ku bino n’alabula abatuuze okukomya ebikolwa bino kubanga abapoliisi babeera bakola mulimu gwabwe ogw’okutangira ekirwadde kya Ssennyiga Corona.
Ono yakiggumizza nti baakugenda mu maaso n’okukwasisa ebiragiro bya Ssennyiga Corona mu nkola okutuusa ng’ekiragiro ekiggula amabaala kifulumye.
Ono tebaakomye ku kya kumukuba, wabula baamubbyeko essimu ze ne ssente enkalu nga kwogasse ne leediyo kkoolo abaserikale ba poliisi gye bakozesa ku by’empuliziganya. Kuno kw’ogatta n’okukuba emmotoka ya poliisi nnamba UP 2619 amayinja ne bagyasa endabirwamu.
Musiho yannyonnyodde nti baliko abantu be baamaze edda okukwata abamu ku beetabye mu bikolwa bino ne baggulwako emisango egiwera okuli n’okukuba omupoliisi.
Bino we bijjidde nga waakayita wiiki emu nga poliisi egobaganye n’abamu ku batuuze abaasalawo okuggula amabaala gaabwe era ng’ekikwekweto kino we kyaggweeredde ng’abasoba mu 80 bakwatiddwa.