Musasi waffe

Ab’ebyokwerinda nga bakulembeddwamu Poliisi n’amagye ga UPDF balabudde omuntu yenna aneetantala okwekalakaasa olw’omuggalo nti kajja kumujjuutuka.
Olwleero Poliisi, amagye n’aba LDU abampi nabawanvu bakadde kuyiibwa mu Kampala n’ebitundu ebiriranyeewo oluvannyuma lw’okufuna amawulire nti aba boda boda wamu na ba takisi babadde bateekateeka kwekalakaasa oluvannyuma lwa gavumenti okubagaana okutikka abasaabaze mu kaweefube w’okulwanyisa ekirwadde kya coronavirus.
Bwabadde ayogerako eri Bannamawulire ku ssengejjero ly’amawulire ga gavumenti erya Uganda Media Centre, Fred Enanga eyogerera Poliisi agambye nti mu kaseera kano nga coronavirus akutte akati mu Uganda, kyabulabe okukkiriza abantu okwekalakaasa.
“Naffe tumanyi embeera mwemuli nti nzibu naye okukkiriza okwekalakaasa kyabulabe nnyo kubanga obulwadde bwa coronavirus bukyaliwo mu ggwanga.
Tubasaba okukozesa amakubo ag’eddembe okulaba nga mwogera ne gavumenti okulaba egeri gyemuyinza okuggulwawo,” Enanga bweyagambye.
Ono era yasabaye abo bonna abakkiriziddwa okuddamu okukola okussa mu nkola ebiragiro bya gavumenti okulaba ng’obulwadde buno tebusaasaana.
Ku lulwe, omwogezi wa magye, Brig. Richard Karemire, yategeezezza nti kyennyamiza nti eggwanga eribadde litandise okuwangula olutalo l’wokulwanyisa Coronavirus kati ate lisebengerera olw’ebikolwa by’abantu.
Karemire yategeezezza nti obulabe eggwanga lyebwolekedde bwamaanyi okusinga bwebwali emyezi esatu emabega ng’omuggalo tegunnalangirirwa.
“Mugoberere ebiragiro bya gavumenti okwambala mask, tonsemberera, wamu n’okunaaba mungalo kubanga olutalo luno tululimu fenna,” Karemire bweyagambye.
Bwosomera bino, ng’abantu 646 mu Uganda bamaze okuzuulwamu ekirwadde kya coronavirus.









