Bya Ssemakula John
Kampala
Poliisi n’ekitongole ekivunaanyizibwa ku kufuluma n’okuyingira kw’abantu mu ggwanga, banunudde abaana abawala abawera 42 ababadde bakukusibwa era ne bakwata n’omuntu agambibwa okuba nti yabadde mu lukwe lw’okukusa abawala bano.
Abanunuddwa bonna nzaalwa y’eggwanga lya Burundi wano ku muliraano era okusinziira ku mwogezi w’ekitebe kya bambega e Kibuli, Charles Twine, agamba nti omukwate baamusimbye dda mu kkooti era bw’atyo n’asindikibwa ku alimanda gy’anaava ayongere okuwerennemba n’emisango egimuvunaanibwa.
Twine agamba nti omuwendo gw’abaana abawala abakukusibwa okuva e Burundi gweyongedde nnyo ensangi zino.
Ku ntandikwa y’omwezi guno abawala abawera 32 baanunulwa ku baali babakukusa era nga bonna baali bannansi ba Burundi era nga kigambibwa nti baali baakuyitira Uganda okusobola okutuusibwa mu kyombo kya Buwarabu.
Okusinziira ku Twine abamu ku baana bano abakukusibwa baggyibwamu ebitundu byabwe eby’omubiri ku mpaka. Ekitongole ky’ensi yonna ekya United Nations kyavaayo n’ekiraga okutya olw’essente ezigulibwa ebitundu by’abantu ng’ensigo egula ssente eziwere obukadde 113.4, omutima obukadde 515.4 ate ekibumba bakigula obukadde 680.
Bano bagamba nti ssente zino ze zongedde ebikolwa by’okukusa abantu era bangi babeera baana abato abamaliriza nga bafiiriddwa obulamu bwabwe.
Alipoota ya poliisi ekwata ku buzzi bw’emisango eyasembyeyo eraga nti bafuna emisango 214 mu mwaka gwa 2020 ate 2019 gyali 252 ekitegeeza nti omuze guno gwakendeera ebitundu 15.1 ku buli 100.