• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Poliisi entagaazizza ku by’okuddamu okunnoonyereza ku nfa ya Gen. Lokech

Gambuuze by Gambuuze
October 11, 2021
in Amawulire
0 0
0
Poliisi entagaazizza ku by’okuddamu okunnoonyereza ku nfa ya Gen. Lokech
0
SHARES
59
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kampala

Poliisi ekakasizza nga bw’ezzeemu okubuuliriza ku nfa ye yali omumyuka wa Ssaabaduumizi wa poliisi, Lt Gen. Paul Lokech.

Lokech eyayatiikirira ennyo ng’empologoma y’e Mogadishu olw’okufufuggaza abatujju ba Alshabaab mu Somalia, yafa mu August nga 21, era ebbaluwa y’abasawo yalaga nti ono okufa kwe kwava ku kwetukuta kw’omusaayi mu kakongovule akaava ku kigwo kye yafuna.

Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku Mmande,  omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Ennanga  agambye nti Ssaabaduumizi wa poliisi yennyini, John Martins Okoth Ochola, ye yalagidde okubuuliriza kuno kuddemu oluvannyuma lw’abakulembeze ne bannabyabufuzi mu Acholi  okwemulugunya ku kituufu ekyatta omwana waabwe.

“Ssaabaduumizi yatulagidde tuddemu okunoonyereza kubanga bannabyabufuzi mu Acholi omuli n’ababaka ba Palamenti , baali tebamatidde n’ebyo ebyabagambibwa mu kuziika, era wano we tusinzidde okuddamu okunoonyereza.” Enanga bw’agambye.

Enanga agambye nti alipoota eyafulumizibwa okusooka ku nfa ya Gen. Lokech yalaga nti okwetukuta kw’omusaayi gwamugenda  mu mawuggwe, wabula ayongeddeko nti okunoonyereza okupya kugenda kwongera kutangaaza ku alipoota eyasooka okufumizibwa.

“Okunoonyereza kukolebwa tusobole okufuna ekifaananyi ekituufu era kimalewo okubuusabuusa abakulu b’e Acholi kwe balaga nga tugenze okuziika Gen. Lokech.” Enanga bw’agasseeko.

Enanga alabudde abantu abatandise okuteebereza ng’okunoonyereza kuno bwe kugendereddwamu nti byekuusa ku butwa awamu n’entalo nga ze zaavaako okufa kwe, by’agamba nti tebiriiko mutwe na magulu.

“Temuyamba baaluganda lwa mugenzi kuwona biwundu bibali ku mitima nga mwogera ebigambo ebitaliimu makulu, tulinde alipoota endala esooke efulume.” Enanga bw’alabudde.

Kinajjukirwa nti mu kuziika Lokech, abakulembeze n’ekibiina ekitaba ababaka ba Palamenti abava mu Acholi, baasaba bafune enyinyonnyola ematiza ku nfa y’omuntu waabwe.

Era wano Minisita w’ensonga z’omunda mu ggwanga era eyali akiikiridde Pulezidenti Museveni ku mukolo guno, Maj. Gen. Kahinda Otafiire yalabula abakungubazi okuggya eby’obufuzi mu nfa ya Lokech era beewale okusasamaza abantu n’okubakumamu omuliro.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist